Obwakabaka bukuzizza Olunaku lw’Abaana,  bweyamye okukwasizzaako abazadde okubagunjula

Amawulire Feb 13, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Lubiri – Mmengo

Obwakabaka bukuzizza olunaku lw’abaana mu Buganda era nebweyama okusigala nga bukwasizzaako abazadde okugunjula abaana bano n’okubazuulamu ebitone nga buyita mu Minisitule y’Embeera z’abantu wamu ne woofiisi ya Nnaabagereka.

Obweyamo buno,  Nnaabagereka Sylvia Nagginda abutisse Omuzaana Marion Nankya Wasajja bw’abadde amukiikiridde ku mukolo guno oguyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.

Era kitegeerekese nti Obwakabaka bwakukozesa eddoboozi lyabwo obulungi okuyamba abalala olwo bafuuke abantu ab’omugaso mu ggwanga kiyambe okulaakulanya Uganda ey’enkya.

Nnaabagereka akubirizza abaana okuba abantu balamu,  okwenyigira mu nsonga ezibakwatirako awamu,  okunyweza obwesimbu n’empagi z’obuntu bulamu ensi esobole okubanguyira.

Ono akalaatidde abaana okukimanya nti byebakola kati bikola nnyo ku byebiseera bya buganda ebyomumaaso n’abasibirira entanda okulowooza ku buli kyebakola.

Abazadde abakuutidde okufaayo nga bawa abaana obusobozi nokubagulirawo emikisa basobole okukola obulungi basobole okutukagana nebiseera binno ebyenkyukakyuka kuba abaana bangi mu kisaakate bakyuka mu ndowooza zabwe nebafuna obuvumu nebasobola nokufuuka abakulembeze.

 Nnaabagereka banno abajjukiza nti buli mwaka ogutita tegudda era nabajjukiza bwebaali abawere era betaaga okwegendereza ennyo mu byebabadde bakola nga bigya mu muntu gwebanenyumirizaamu kuba byebakola mukiseera kinno ndabirwamu ku biseera eby’omumaaso.

Minisita w’Ekikula ky’ Abantu,  Owek Mariam Nkalubo Mayanja asabye abaana okuyigira kwebyo bazadde babwe byebakola okusinga byebabagamba okola. Era omuzadde bwalagiriza obulagiriza omwanatanyiriza mulimu wabula bwamukwasizaako nebakola bombi omulimu guguka bulungi.

N’abazadde abakubirizza  okuwuliriza eddoboozi ly’abaana babwe kuba lyamugasso nnyo eri enkulakulana yamaka era mukussa ekitiibwa ku ddoboozi ly’abaana, buli omu alina okubayamba okukula obulungi n’empisa ennungi olwo eddoboozi lyabwe lisobole okubeera eryomugaso.

 Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essazza Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandazi Matovu asinzidde wano naakuutira  abazadde wamu nabakuza babaana mu ggwanga linno okufa ku mwana ow’obulenzi kuba asuliriddwa nnyo so omuwala nafibwako ekyenssuso.

Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’omukolo guno, Esther Nakafu asabye eddoboozi ly’abaana liwulirwe ate lisigale nga kkulu.

Kinajjukirwa nti olunaku luno luyindidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, “eddoboozi ly’omwana kkulu naddala mu kukula era kino kibayambako n’okutambulira mu makubo amatuufu n’ennono zaabwe” nga guwagiddwa ; Child Fund, World Vision uganda , Save the children, Centenary Bank n’abalala.

LANGUAGE