
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bwakukuba Minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja mu kkooti olwo kuvvoola n’okumutyobola Nnamulondo buli kaseera n’okuyisa ebiragiro ebimenya amateeka ku ttaka ly’ e Kaazi mu Busiro.
Kino kibikuddwa Ssaabawolereza w’ Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokusatu.
Owek. Bwanika agamba nti Minisita Mayanja azze ayogerera Obwakabaka ebikikinike era nga nekisembyeyo kwekugenda ku ttaka lye Kaazi gyeyategeerezza nti ssi lya Kabaka.
Ono era yasinzidde wano naalagira ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku ttaka ki Buganda Land Board okusazibwamu kubanga tekiriiwo mu mateeka.
Wano Obwakabaka webusinzidde okuddamu okulung’amya ku ttaka lino nebukakasa nti lya Kabaka era kkooti enkulu kino yayongera okukikakasa mu 2020 bweyali ewa ensala yaayo mu musango ogwawaabwa Omulangira Henry Kalemeera Kimera nga agamba nti ettaka lino ssi lya Buganda.
Obwakabaka butegeezezza nti ettaka lino liwerako yiika 120 era nga lwaweebwa Abasikawutu mu 1948 bakolereko ebyabwe wabula nga tebaawebwa lukusa lwonna kutunda oba kusalasala mu ttaka lino, nga bwebakola.
Ssabawolereza Bwanika agattako nti abantu bonna abalina ebyapa ku ttaka lino, babirina mu bukyamu kuba Kamisona w’ebyettaka yabisazamu dda, naasaba ababirina okujja e Mengo bongere okulung’amizibwa.
Ono annyonnyoddde nti bakooye Minisita Sam Mayanja okuwabya abantu olw’ebigendererwa bye ng’ omuntu kwekusalawo bamutwale mu kkooti nga omuntu aleeteb obujulizi kwebyo byasaasaanya.
Mungeri yemu Owekitibwa asabye abantu bw’Obwakabaka obutawuddisibwa bantu nga bano abenoonyeza ebyabwe era abaliwo okutattana ekitibwa ky’Obwakabaka, wabula bawulirize ekiva embuga buli kaseera kwebaba batambulira.

Ye munnamateeka era nga ye mwogezi wa Buganda Land Board, Denis Bugaya agamba nti okusinziira ku bikolwa bya Minisita Sam Mayanja, babusaabusa oba yasoma amateeka kuba ayogera nnyo ebya Kasalo.
Bugaya ategeezezza nti buli kyetagisa okutwala Minisita Sam Mayanja mu kkooti kiwedde era basuubira nti obujulizi bwebalina bumala bulungi okumusingisa omusago guno.
Bugaya akikkaatiriza nti tebagenda kutunula nga abantu nga Sam Mayanja bawabya abantu ba Kabaka n’okuvvoola Nnamulonda wabula bakubakolako nga amateeka bwebagamba.
Kinajjukirwa nti Ettaka ly’e Kaazi lyawandiisibwa mu mannya ga Kabaka wa Buganda era okuva ku Ssekabaka Daudi Chwa II, ettaka lino yalirina nga Kabaka wa Buganda so si ng’omuntu, oluvannyuma lyadda eri Ssekabaka Muteesa II era naye ng’alikozesa nga Kabaka wa Buganda.
Olw’ebyo ebyaliwo mu 1966 ng’Obwakabaka buggyiddwawo, Ettaka lino lyateekebwa wansi w’akakiiko k’ebyettaka aka Uganda Land Commission nga bwekirambikibwa Ssemateeka wa Uganda owa 1967 mu ‘Article 108’.
Obwakabaka bwe bwakomawo mu 1993, Ettaka lino lyaddizibwa eri Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era naye alikozesa nga Kabaka wa Buganda wabula si nga omuntu era mu kiseera kino lirabirirwa ekitongole ki Buganda Land Board.”