
Bya Shafik Miiro
Vvumba – Bulemeezi
Omulangira Dr. Kassim Nakibinge asabye abaana okukuuma omukululo gwa Kitaabwe nga n’ekikulu abalabudde obutalwanirwa bya bugagga bakadde bwabwe byebabeera balesse.
Obubaka buno Omulangira Nakibinge abuwadde yeetabye mukwaya olumbe lwa Owek. Hajj Ibrahim Sseguya lwabiziddwa e Vvumba mu Bulemeezi ku Lwomukaaga.
Omulangira Nakibinge asabye abaana b’ omugenzi bakwatagane okulaba nga bongera okukulaakulanya byonna bye yatandikako.

Omulangira Nakibinge atenderezza omukululo gwa Hajj Sseguya n’olwebikulu bye yakolera obusiraamu mu Uganda okuviira ddala mu biseera bya Hajj. Badru Kakungulu.
Ono yeebazizza abaana olw’ engeri gye bakulaakulanyiza ekifo ky’ekiggya awaziikibea Kitaabwe naabasaba okukuuma omukululo gwa kitaabwe.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase ku lw’Obwakabaka ayogedde ku mugenzi ng’eyali omusajja ow’amaanyi era nga kino kyeyolekera mu ngeri gye yaweerezamu Obusiraamu, Obwakabaka n’Eggwanga okutwaliza awamu.
Owek. Kaawaase agamba nti ono yali muwabuzi nnyo mu nsonga ez’enjawulo eri abo abaamutuukiriranga kyokka okuweereza Kabaka teyakikomya ku ye yekka, wabula n’ateekateeka n’Abaana abamu abali mu buweereza e Mengo kati.
Yeebazizza abaana olw’okugoberera ennono y’okwabya olumbe ne batapapirira kwabya lumbe ng’omuze bweguze gulabika ensangi zino.
Omusika Lubega Muhammad Sseguya amusabye okukulembera obulungi banne, abawe ekitiibwa, abawulirize era abagaale olwo nabo bakole batyo basobole okukuuma omukululo gwa Kitaabwe.
Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde wano n’akubiriza abaddu ba Allah okutwala eky’okulabirako ku mugenzi engeri gye wagira ennyo emirimu gy’Obusiraamu, olwo nabo benyigiremu okulaba nga gitambuzibwa mu ngeri ez’enkulaakulana.

Lubega Muhammad Sseguya y’asikidde Kitaawe Omugenzi Hajj Sseguya nga Lubuga we ye Mariam Nalubega
Omugenzi Hajj Sseguya yaliko omukiise mu lukiiko lwa Buganda era n’aweereza ku bukiiko obw’enjawulo, yaliko Ssentebe w’omuzikiti gw’e Kibuli okumala emyaka 25 ate nga yali musaale nnyo mu kutandikibwawo kw’eddwaaliro ly’e Kibuli.