
Bya Shafik Miiro
Mubende – Buweekula
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asabye olunaku lw’ Ameenunula olukuzibwa buli mwaka nga 26 lujjukize gavumenti ku bwetaavu bw’ okukola ku bizibu ebiruma omuntu asookerwako.
Obubaka buno, abuwadde kulwa Buganda bw’ abadde yeetabye ku mukolo gw’ okujjukira bwegiweze emyaka 39 bukya NRM/NRA ejja mubuyinza ku mukolo oguyindidde mu kisaawe kya NTC, Mubende mu Buweekula ku Ssande.
Owek. Kaawaase agamba nti buli mulembe gubeera n’essuula yaagwo erabikira mu bikolwa by’abakulembeze. Anokoddeyo ensonga ya NRA okuzzaawo obukulembeze obw’Ennono obwali bw’aggyibwawo mu Uganda ng’ekimu ku birungi ebitasobola kubuusibwa maaso. Wano w’asabidde n’ensonga ezisitula omutindo gw’embeera z’abantu zisoosowazibwe naddala mu byenkulaakulana ng’enguudo, amalwaliro, amasomero n’ebirala.

Prof. Kigongo ateegeezezza nti mu myaka 39 egya Gavumenti ya NRM waliwo ebituukiddwako omuli n’okuddiza Buganda ebintu byayo eby’enjawulo, kyokka alaze nti wakyaliwo ebisoomooza ebyetaaga nabyo okulongosebwa abantu bongere okweyagalira mu Nsi gaabwe n’okunyumiriza mu bukulembeze bwe balina.
Pulezidenti Museveni yabadde omugenyi omukulu era waliwo abaweereddwa emidaali okusiima obuweereza bwabwe eri eggwanga.