Owek. Kikomeko asabye abasomesa n’abayizi okutwala ekisiibo nga kikulu

Ebyenjigiriza Mar 05, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Kakeeka – Mmengo

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko asabye abayizi wamu n’abasomesa okutwala ekisiibo ng’ekintu ekikulu kisobole okubagasa.

Obubaka buno, Minisita Nakate abuwadde yeetabye mu kusaba okutandika ekisiibo ku Buganda Royal Institute ku Lwokusatu.

Owek. Nakate bano abakuutidde okweyisa obulungi era bagoberere enjigiriza ya Bayibuli n’okugezaako okuyamba abeetaaga abatalina.

Bano abategeezezza nti mu kiseera kino Obuganda buli mu nteekateeka z’amazaalibwa ga Ssaabasajja ag’emyaka 70, bwatyo asabye buli omu okuwagira enteekateeka omuli okujjumbira ebyoto, okugula emijoozi gy’emisinde eginaabawo nga 6/04/25 n’enteekateeka endala.

Omubaka wa Paapa His Excellency Archbishop Augustine Kasujja, agamba ekisiibo kituukidde mu mwaka gwa Jubireewo n’olwekyo bulimu asaanye okuba n’ essuubi, okweza obugya, okuyamba abali mu bwetavu gamba nga abasibe, abalwadde ate n’abayizi okuyambagana. Ayongeddeko nti ekisiibo si kukola bintu bakulabe wabula okukola ebyo Katonda by’ayagala.

Ssenkulu w’ettendekero lino, Owek. Joseph Bbalikuddembe asabye abali mu kisiibo okubeera eky’okulabirako eri abalala nga babayisa bulungi, boolesa empisa ennungi ate bajjumbire okusaba n’okwegayirira Katonda waabwe mu kiseera kino.

LANGUAGE