
Bya Musasi Waffe
Bulange – Mmengo
Minisita w’ Ebyobuwangwa, Olulimi, Amasiro n’Ennono Owek. Anthony Wamala asisinkanye Olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa oluggya nebateesa ku nsonga ez’enjawulo.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande nga kino kiddiridde Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda II okusiima ku nkomerero y’omwaka oguwedde naalonda olukiiko oluggya okukulembera Embuga eno.
Ssentebe w’Olukiiko lw’eddiiro lya Katikkiro (Kisekwa) omuggya, Omuk. Dr. Robert Ssonko Kaanakuloopa n’olukiiko lwe oluvannyuma lw’okusisinkana Minisita batandise emirimu gyabwe mu butongole.
Owek. Wamala bano abasibiridde entanda yakukolera wamu nga bakulembeza obwerufu, obwesimbu, amazima n’okwekeneenya obulungi ensonga zonna ezibatuusibwako mu mirimu gye bagenda okukola.
Kinajjukirwa nti Olukiiko oluggya luliko abantu musanvu nga ku bano kuliko Ssentebe Omuk. Dr. Robert Ssonko – Kisekwa, Omuk. Salim Makeera – Omumyuka wa Kisekwa, Omuk. Lubega Ssebende – Omuwandiisi w’eddiiro ate abalala nga Omuk. Andrew Kibaya, Omuk. Dan Kyagaba, Omuk. Samuel Walusimbi ne Omuk. Jamiru Ssewanyana.