Temulowooza nti okufuna ddigiri, ensi oba ogimazeeyo – Owek. Kiyimba

Amawulire Feb 15, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Gombe – Bitambula

Minisita wa Kabineti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba asabye abafunye ddiguli okusigala nga bakakkamu okusobola okuwangula ensi.

Okwogera bino, Minisita abadde Lwadda, Mumyuka Gombe ku mukolo gw’okujagulizaako Cossy Baagala eyatikkirwa ddiguli mu kubala ebitabo okuva ku Ssentendekero e Makerere. 

Owek. Noah Kiyimba era akubiriza abazadde okusomesa abaana babwe kyongere okutangaaza ebirooto byabwe eby’omu maaso. 

Minisita Kiyimba abakuutidde okuteekateeka abaana nga kino kijja kubayambako okweteekateekera ensi eno ejudde ebisoomoza.  

Oweek. Kiyimba asabye Baagala okwebuuza mu buli kimu kyakola asobole okutambulira mu mazima nga takyuukakyuuka. 

Oweek. Kiyimba atusiiza ekirabo kya Katikkiro Charles Peter Mayiga eri Cosy mwamutonedde ekitabo kye ekya “Work and Prosper” nga amukuutidde okukisoma asobole okunyonyoka obubaka obw’enkizzo obukirimu.

Omujaguza Cossy Baagala yeebaziza nnyo Katonda awamu n’abazadde be olw’okumuwa omukisa okusoma namaliriza nga tayise mu kusomoozebwa okw’amaanyi era akubiriza abayizzi abalala okusaayo omwoyo batuuke ku kkula nga  lino.

Omukolo gutandise n’ ekitambiro ky’emmisa ekulembeddwamu Rev. Fr. Robert Mayiga nga akubiriza Cossy okusaamu nnyo ekitiibwa bazadde be kubanga be bamufudde kino kyatuseeko.

LANGUAGE