Bya Pauline Nanyonjo
Abantu munaana be bavuganya ku bwa pulezidenti bw’eggwanga Uganda mu kalulu akanaakubwa mu 2026 nga bakasiddwa era ne basunsulwa akakiiko k’ebyokulonda newankubadde abalangirirwa okuggyayo empapula baasoba mu 200.
Kinajjukukirwa nti ssemateeka wa Uganda owa 1995 awa akakiiko k’ebyokulonda omwaganya okutegeka okulonda kwa bonna buli luvannyuma lwa myaka etaano era bwekiti bwe kizze kitambula bukya ayisibwa.
Abavuganya bonna omunaana (8) abagala okukulembera eggwanga omutali mukyala yadde, kwe kuli pulezidenti w’Eggwanaga aliko kati Yoweri Museveni Kaguta owa National Resistance Movement (NRM), Maj. Gen Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation (ANT), Robert Kasibante owa National Peasants Party (NPP), Mubarak Munyagwa owa Common Man’s Party(CMP), Elton Joseph Mabirizi owa Conservative Party (CP), Nandala Mafabi owa FDC, Frank Kabinga Bulira owa Revolutionary Peoples Party(RPP) ne Robert Kyagulanyi Ssentamu owa National Unity Platform (NUP).

Bano okusunsulwa kye kyabadde ekigere ekisooka mu lugendo oluwaanvu kumpi lwa myezi esatu nga bamatiza bannayuganda abalonzi okubawa akalulu kaabwe nga 12 Gatonnya 2026 babakulembere emyaka 5 egiddako, kiyite ekisanja.Bonna 8 bewera nti bannayuganda kabatande babeesigise entebe y’obwa pulezidenti baakukyusa ensi yaabwe efuuke eyo eyegombesa buli muyise.
Akakiiko k’ebyokulonda nga kayita mu ssenkulu waako Omulamuzi Simon Byabakama, keyamye okutegeka akalulu ak’eddembe ate nga kalimu obwerufu obw’ekika ekya waggulu nga tekukubidde ku ludda lwa muntu yenna.
Abavuganya ku bwa Pulezidenti batandise okunoonya akalulu ku bbalaza nga 29/09/2025 n’okwanjula Manifesto zaabwe okusobola okusaka obuwagizi mu bantu ba beesige okubawa akalulu