Bya Miiro Shafik
Namirembe – Kyaddondo
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alaze obwenyamivu olw’abantu abatya obufumbo ennaku zino ate abalala obufumbo ne bakola bwa bikukkujju akabonero akalaga obutali bugunjufu.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa okwogera abadde yeetabye mu kusabira abagole Ben Foster ne Leah Nandugga mu kkanisa e Namirembe.

“Omuzadde yenna abaana bw’afumbiza omwana mu makubo amatuufu tumujagulizaako kubanga abantu ennaku zino batya obufumbo, abalala bakola bwa bikukkujju” Owek. Nsibirwa.
Owek. Nsibirwa annyonnyola nti amaka gwe musingi omuzimbirwa empisa, obuntubulamu n’okuteekateeka Eggwanga ery’enkya. Bwatyo n’akulisa Foster ne Nandugga okuyingira obufumbo obulambulukufu era n’abaagaliza okubuwangaaza n’emikisa gya Katonda nga gibakulembera ekiseera kyonna.
Owek. Nsibirwa mu mbeera y’emu akulisizza abazadde b’abagole olw’ekkula abaana baabwe lye batuseeko, naye mu ngeri ey’enjawulo ayogedde ku Taata w’omuwala, Dr. Livingston Ddungu ng’omusajja omwetowaze eyeerandiza n’atuuka ku buwanguzi obw’amaanyi naddala mu kisaawe ky’ebyenjigiriza kyokka n’asigala nga mukkakkamu era akubirizza abaana okumuyigirako nabo batuuke ku buwanguzi obw’enjawulo mu Nsi.

Bp. Henry Katumba Tamale eyali Omulabirizi wa West Buganda y’akulembeddemu okubuulira n’okuwa omukisa empeta z’abafumbo ababiri ba Foster, ategeezeza nti obufumbo kusalawo kwa Katonda era abo baasalawo okubeera bombi abanyweza era n’abawa omukisa.
BP. Katumba bano abagambye nti obufumbo tebubulamu bisoomooza kyokka abasabye okwekwata Katonda mu mbeera zonna ajja kubavvuunusa embeera ezo zonna. Abaagalizza obufumbo obulungi n’asaba Abooluganda okuyimirira wamu nabo okulaba nti olugendo lwe batandise lubeera lulungi ddala.
Abagole Ben Foster ne Leah Nandugga bagattibwa empeta mu mateeka, ate mu kkanisa bazze okufuna omukisa mu bufumbo bwabwe n’okuwa empeta zaabwe omukisa Katonda okubakulemberamu mu lugendo lwe batandise.
