Nkobazambogo Eyigiriza Obuvunanyizibwa

Amawulire Oct 01, 2025
Share This

Bya Peter Musoke

Ssingo

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone alambudde Bannankobazambogo Akalibaakendo mu ssaza Ssingo.

Ensisinkano eno ebadde ku Nexus International University nga yeetabyemu amasomero okuli MUMSA High School, Ssekanyonyi S S, Bukomero S S, Standard High School , St Francis College, Namungo Seed S S, Kiyinda Islamic Mityana.

Minisita Serwanga akuutidde abayizi bano okukuuma ekitiibwa kya Nkobazambogo mu masomero nga bakola obuweereza obuyamba ekibiina okulabika, abakuutidde okuwa abasomesa ekitiibwa n’okusoma ennyo ebitabo okusobola okuyita ebigezo wamu n’okwagala ebika mwe basibuka.

Owek. Serwanga akalaatidde abayizi abeegattira mu Nkobazambogo mu ssaza Ssingo okukola obutaweera babeere abakulembeze abagasa. Ategeezezza nti Nkobazambogo ekola omulimu munene mu kutendeka abavubuka okubeera n’obuvunanyizibwa nga batandikira mu masomero gaabwe nga kino kitandikira ku nneeyisa yaabwe. Bwatyo akubirizza abayizi okweyisa bulungi kibayambe okuwangula mu bulamu bw’Ensi.

Minisita eno ayanirizziddwa Omumyuka Owookusatu wa Mukwenda Omw Jjumba Steven era ono ye mu bubaka bwe asabye abakulembeze ba Nkobazambogo okubeera abayiiya, okukuuma ebiseera mu buli kye bakola basobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu. Abakubirizza n’okugoberera enteekateeka ezibeera mu ssaza Ssingo n’okuzenyigiramu.

Wabaddewo okulayiza abakulembeze b’ababayizi ba Nkobazambogo Akalibaakendo mu ssaza Ssingo era Kalungi Doreen okuva ku Standard High School – Mityana ye Ssentebe w’Olukiiko olukubye ebirayiro.

LANGUAGE