Bya Pauline Nanyonjo
Kampala-Kyaddondo
Ebigezo by’akamaliririzo ebya siniya ey’okuna bitandikiddwa mu maanyi nga amasomero gonna agaawandiisa abayizi gakakasiddwa nti gatandise ebigezo leero nga abayizi abawerera ddala 432,159 be bewandiisa okutuula ebigezo by’omwaka guno mu siniya ey’okuna mu nsom empya egobererwa.
Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu mu gavumenti eya wakati John Chrysestom Muyingo asinzidde ku Media Center mu Kampala w’aweredde alipoota esookerwako ku bigezo ebitandise, annyonnyodde nti ebigezo bitandikiddwa mu maanyi kubanga buli kifo ewawandiisibwa okukolerwa ebigezo, bituusiddwa mu budde.

“Nkubidde akulira UNEB essimu enkya ya leero n’ankakasa nti ebikosezesebwa mu bigezo byonna byatusiddwa mu budde okwetoloola eggwanga lyonna era ne bekikwatako okuba bakalabalaba okuva mu kitongole ekyo okuli abasikawutu, abakuuma ebigezo bonna basindikidwa dda okukuuma ebigezo ebyo” Minisita Muyingo bwanyonyodde.
Minisita Muyingo alaze nti abayizi abafulumizibwa ku ddala lya siniya ey’okuna buwanguzi bwa mannyi eri eggwanga kyokka nabo mumuli gwamanyi ogwakira eggwanga olw’obukugu bwe baweereddwa mu masomo agenjawulo agabawa omukisa okwongerayo emisomo gyabwe.
Ku nsonga z’abasomeesa abakyediimye okudda ku mirimu okusomesa olw’emisaala gyabwe egitanayongezebwa nga bwe basaba, Minisita Muyingo abasabye basomese abaana be ggwanga kuba gavumenti ekyali ku kisubizo kyayo eky’okubongeza omusaala mu mwaka gwe byensimbi 2026/2027 kale ensonga zaabwe zonna bazirekere ebibiina ebibatwala ne gavumenti.
Minisita ku ky’abakulupya abatwala ensimbi za bayizi ate ne batabawandiisa kutuula bigezo byakamalirirzo asabye ababamanyi okubalonkoma bakubibwe mu mbuga z’amateeka ebikolwa ebyo bikome ku bbo ng’abalala babalabirakoEbigezo eby’akamalirizo ebya siniiya ey’okuna ebitandise leero bisuubirwa okuggwa nga 10 Museenene 2025.