Abavubuka Babanguddwa ku kukozesa Biogas

Amawulire Nov 12, 2025
Share This

Bya Pauline Nannyonjo

Buluuuli

Minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi, n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, atongozza omusomo gwa ba kitunzi n’abakugu mu by’okukanika ebyuma bya biogas mu Masaza okuli; Busiro, Bugerere ne Buluuli.

Omusomo guno ogw’ennaku ebbiri guyindira ku mbuga y’eggombolola Mumyuka Kakooge e Buluuli.

Minisita Mariam Nkalubo Mayanja ategeezezza nti ekiruubirirwa ky’omusomo guno kwe kulaba nga abantu ba Buganda bettanira okukozesa biogas ate beewale okutema emiti okufuna amanda n’Enku okufumbisa, by’agambye nti bivaako okutyoboola obutondebwensi.

Teddy Nabakooza Galiwango, Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka, agamba nti obutondebwensi bwonooneddwa nnyo ekiviiriddeko ebbugumu erisusse, okwonooneka kw’ettaka, n’ensulo z’amazzi okukalira. N’olwekyo waliwo obwetaavu obw’okukubiriza abantu okukyusa enfumba y’abwe bettanire okufumbisa biogas kisobole okubayambako okukuuma obutondebwensi n’okukekkereza ku nsimbi zebasasaanyiza mu kugula amanda n’Enku.Abavubuka

ababanguddwa abavudde mu Ssaza Busiro, Bugerere ne Buluuli, bagenda kuyiga okukola biogas n’okumuddaabiriza, ssaako okukola obwa kitunzi okumutunda mu bitundu byabwe. Omwami w’Essaza Buluuli, Oweek Ssonko Kaboggoza, akubirizza abavubuka ababanguddwa okutwala enjiri y’okutaasa obutondebwensi mu bantu naddala abo abakozesa enku okufumba.

Gye buvuddeko obwakabaka bwayingira mu mukago n’ekitongole kya Ecosafe okuluubirira okulaba nti abantu ba Buganda bayiga okukoze amasannyalaze agava mu nnakavundira, era bebavujjiridde omusomo guno.

LANGUAGE