Bya Miiro Shafik
Kampala – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Asiimye Bannamikago abatambula n’Obwakabaka mu kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko.
Obwakabaka bwa Buganda butetegese olukuŋŋana ne Bannamikago baabwo oluyindidde ku Four Points by Sheraton nga lugendererwamu okukuba ttooci mu bituukiddwako mu nkolagana eziriwo era lutambulidde ku mulamwa “Emikago ku lw’okutumbula embeera z’abantu n’ebyenfuna byabwe”Ssaabasajja
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awerezza obubaka mu kitabo, obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga eri Bannamikago b’Obwakabaka. Beene asiimye obumalirivu n’okwewaayo abakolagana n’Obwakabaka bwe balaze mu kugatta ettofaali ku nkulaakulana y’abantu be n’okunyweza obuwangwa bwa Buganda.

“Ekiruubirirwa kyaffe eky’okuzza Buganda ku Ntikko tusobola kukituukako ng’abantu baffe bali mu mbeera ennungi nga basobola okutuusibwako obuweereza obw’enkulaakulana n’emikisa egireeta enkulaakulana. Kino tusobola kukituukako nga tulina be tutambula nabo” Kabaka Mutebi II.

Omuteregga agamba nti mu mulembe guno ogw’emikago okugatta ku nkulaakulana, Obwakabaka bwa Buganda bwongera okuteekawo amakubo agasobozesa ebitongole ebirina okwolesebwa kw’okutumbula embeera z’abantu ne gye bawangaalirira.
Ayongeddeko nti emikago Obwakabaka gye bukola gitunuulira okuleetawo enkyukakyuka ey’olubeerera. Omuteregga asiimye Bannamikago b’Obwakabaka n’ategeeza nti waliwo okugenda maaso mu byobulamu, ebyenfuna, obutondebwensi, n’ebirala ebigatta ku miganyulo egigasa abantu bonna.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lulwe ategeezeza nti Obwakabaka bwesigama ku buyiiya n’obwerufu okufuna n’okunyweza emikago egigatta ku kumalawo ebisoomoozo eby’enjawulo n’okutumbula ebyenjigiriza, ebyobulamu, ebyenfuna, okutumbula abavubuka, n’ebirala era agamba nti emikago giyambye nnyo Obwakabaka okutuukiriza obuweereza mu bantu.

Owoomumbuga ategeezeza nti Obwakabaka obumalirivu okwongera okuzimba emikago egiyamba okusitula embeera z’abantu era yeyamye nti Obwakabaka bwakwongera amaanyi mu kunyweza obumu ne Bannamikago okukyusa embeera z’abantu olubeerera.
Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’ono ye muwanika wa Buganda era Minisita avunanyizibwa ku by’ensimbi n’okuteekateeka, ategeezeza nti bingi ebituukiddwako mu mikago Obwakabaka gye bulina era birabwako omuli amalwaliro agazimbiddwa, okulinnya mu mbalirira y’Obwakabaka buli mwaka, okutuusa empeereza z’ebyobulamu, ebyenjigiriza, obutondebwensi n’ebirala mu Bwakabaka era ebibalo biraga nti okugenda mu maaso kwa maanyi ddala.
Bannamikago okuli aba; Airtel, Uganda AIDS Commission, Janan Schools n’abalala baweereddwa ekiseera okwogera ku miganyulo gye bafunye mu kukolagana n’Obwakabaka era bonna bassizza kimu nti Buganda erina enkola ennungamu ezisikiriza abantu okukola nayo ate n’ebirala bye bafunye birabwako ddala.
Bannamikago ab’enjawulo bagamba nti bongedde okufuna obuwagizi mu bye batunda ne bye bakola, ate balaze okusiima eri Obwerufu mu nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka gye kye bagamba nti kyongera okubawa amaanyi okuwagira Buganda mu nteekateeka zaayo ez’okutumbula embeera z’abantu.
Olukuŋŋaana luno lutegekeddwa ekitongole ky’Obwakabaka ekikwanaganya n’okulondoola emikago ki Buganda Investments and Commercial Undertakings Limited – BICUL. Lwetabiddwamu Nnaalinnya Sarah Kagere, Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Bbaale Mugera, Kabineeti ya Kabaka, Abataka Abakulu b’Obusolya, Bannaddiini Omulabirizi Moses Banja, Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’aba Orthodox, Abaami b’Amasaza, Ba Ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka, Baminisita mu Gavumenti ya wakati, Bannamikago ab’enjawulo n’abantu abalala.