Ebizibu Temubigilumuza – Katikkiro Mayiga

Amawulire Nov 16, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kyamuyimbwa – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okukubiriza abantu obutagulumiza bizibu n’okutuuka okubikuba buli omu.

Katikkiro asinzidde Buddu ku kyalo Kyamuyimbwa gye yetabye mu kuziika muwala we, Emily Caroline Nambi Musoke, ng’ono muwala wa mukulu we, omugenzi Flugensio Musoke.

Katikkiro agamba nti abantu okuba n’ebizibu tekitegeeza kwekubagiza wabula balina okuguma okusobola okubawo nga nabyo webiri.

“Ensi erimu ebizibu bingi era oluusi tubikungiriza nnyo, abantu basinda obulwadde naye Emily atuwadde ekyokuyiga eky’obuvumu olw’obugumu bwe ate naffe n’atugumya ng’asaagirira paka weyafiiridde.” Katikkiro.

Kamalabyonna ekinoganyiza nti abantu basaanidde okubera n’emikwano egisobola okuvaamu oluganda. “Ekyamazima ebintu ebikulu mu nsi munno biri bibiri; luganda na mikwano. Oluganda guba musaayi ate omukwano gwe muguwa ogusiba n’okunyweza oluganda mu bantu.”

Owoomumbuga atenderezza omugenzi olw’akamwenyumwenyu k’abadde awa buli omu wakati ne mu bulwadde kyayise eky’okuyiga eri abantu n’abakubiriza obuteekapa n’obutekubagiza olw’ebizibu ebibasoomoza.

Omumyuka Owookubiri owa Pookino Mw. Richard Dick Muwanga ategezeeza nti Emily abadde muzira nnyo mu nzikirizza y’eddini n’obuwangwa bwe nga kino kyeraze lwatu mu mbeera gyabadde atambuliramu nga mulamu.Maama

Maama w’omugenzi Muky. Bernadette Musoke yebazizza nnyo abantu bonna abamubereddewo mu kaseera kano akakazigizigi okuva lwe yafiirwa omwana we okutuuka ku ssaawa ey’okumuwerekera mu nnyumba ye ey’oluberera.Dr

Dr. Fredrick Musoke ayogedde ku lw’abaana mu nnyumba y’Omugenzi Mw. Flugensio Musoke atenderezza nnyo akamwenyumwenyu mwanyina kabadde ayambala nga ayaniriza buli muntu yenna n’agamba nti aggya kulwawo nga akyajjukirwa.

Ye Counsel Jane Musoke, nga naye wa luganda lwe, yebazizza nnyo Katonda olw’obulamu obw’omuwendo bw’awadde muganda waabwe ng’amwogeddeko ng’omuntu abadde ow’omutima omulungi. Faaza Expedito Kitto, bwanamukulu w’e Kabuwoko nga y’akulembeddemu emmisa y’okusabira omugenzi ategezeeza abakkiriza abakunganidde wano nti kisaanidde buli omu okumanya nti agenda kufa era abasabye okukola ebintu ebituufu mu budde bwabyo.

Emily yafiridde ku myaka 57 nga abadde awangalira bweru wa ggwanga era yafiira London, Bungereza nga 30 September.

LANGUAGE