Bulungibwansi e Kira: Kaggo asabye abaana bayigirizibwa

Amawulire Nov 24, 2025
Share This

Bya Ssaava Kanyike

Kira – Kyaddondo

Omwami w’Essaza Kyaddondo Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu asabye abazadde okuyigiriza abaana baabwe enkola eya bulungibwansi bakule nga bamanyi amakulu gaayo wamu n’okweyonja okwewala endwadde eziva ku bukyafu.

Kaggo okwogera bino asinzidde mu kukola bulungibwansi mu muluka gwa Ssaabawali Kyaliwajjala mu ggombolola ya Ssaabaddu Kira mu ssaza Kyaddondo.

Enkola ya bulungibwansi mu Buganda yatandikibwawo mu masaza ga Beene, okwongera okubunyisa obuyonjo mu bantu be wamu n’okukuuma obutondebwensi. Mu mbeera eno Kaggo Magandaazi mw’akulemberereddemu Bannakira okwongera okubunyisa obuyonjo mu kitundu kino.

Mu bitundu ebiyonjeddwa mubaddemu akatale k’e Kyaliwajjala nga Kaggo ab’eno abakuutidde okwongera okukuuma obuyonjo nga waakiri buli mwezi beekolemu omulimu bayonje ebitundu byabwe mwe bawangaalira Kaggo era asanyukidde amasomero agaleese abayizi mu Bulungibwansi lno n’akubirizza n’abazadde okwongera okusomesa emiti emito enkola ya bulungi bwansi bakule nga bagimanyi bulungi.

Ye Omwaami w’eggombolola Ssaabaddu Kira Ssekalega Frank asabye abazadde okukola ky’ekimu nga abaana bazzeeyo mu luwummula oluwanvu basobole okukuuma obuyonjo era bafuuke ekyokulabirako.Namukasa

Namukasa Sylvia, ono ye mutandisi w’essomero Brighton Junior school e Bweyogerere, y’omu ku baleese abayizi okukola bulungibwansi, agamba nti bateekeddwa okuyigiriza abaana enkola eno nga bakyali bato kubanga olwo babeera babategekera ebiseera eby’omumaaso.

Bulungibwansi ono yetabiddwako abayizi ba Brighton Primary School, Bweyogerere, Abaami ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo, abasubuuzi ssaako n’abantu abalala bangi.

LANGUAGE