Obwakabaka bwanjudde enteekateeka y’okutumbula Obuwangwa n’Ebyobulambuzi

Amawulire Apr 14, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Minisita w’ebyobuwangwa mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Anthony Wamala asisinkanye abateesiteesi b’amasaza wamu n’abakulira ebitongole by’obuwangwa ku masaza mu lukiiko olutudde ku kitebe ky’ekitongole ky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board e Mmengo.

Owek. Wamala bano abanjulidde enteekateeka y’okusitula n’okukulaakulanya ebifo eby’obuwangwa mu masaza gaabwe n’ekiruubirirwa ky’okuyitimusa obulambuzi mu Buganda naddala ku mutendera gw’amasaza. Akubiriza abakulira ebitongole by’obuwangwa n’ennono okusooka okutegeera obuvunaanyizibwa bwabwe okusukka ku kunyenya ensaasi.

“Obuwangwa mbeera za bantu ate ennono eba nsibuko y’embeera ezo nti embeera eyo yatandiika etya, buli kitundu gye tubeera kibeera n’ebintu ebyenjawulo ebikyawula ku balala obwo ne buba nga bwe buwangwa bwabwe era ffe wano mu Buganda waliwo ensonga enkulu ennyo zze sirowooza nti n’abagezaako ennaku zino basobola okuzirwanisa ne bazimalawo okugeza ebika byaffe” Oweek Wamala bwanyonyodde ku buwangwa.

Oweek. Wamala bano abakubirizza okutumbula olulimi oluganda kubanga nsonga ya buwangwa yennyini, gye basaana okunyweza mu ngeri zonna olw’ebirungi ebitambulira ku lulimi olwo nga eky’okulabirako awadde kya mirimu egivaamu ensimbi nga okulusomesa, okuluwandiikiramu ebitabo n’emirala.

Minisita Wamala asabye abateesiteesi okufuuka abanonyereza naddala ku buwangwa bwabwe na lwaaki ebintu ebimu bikolebwa mu Buganda baleme kuwakanira kye batamanyi era baleme kuwakanira nsonga ze batategera, eddimu ly’abatisse okutandikirako lya kunonyereza ku nsonga lwaki ennyimbe zaabizibwa mu Buganda.

Ssenkulu w’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda Omuk. Najib Nsubuga anyonyodde nti kisaanidde babeere n’enteekateeka y’okukulakulanya ebifo eby’obulambuzi mu masaza gye baweerereza nga balondoola ebifo byonna ebirimu naye nga bafuba okuwandiika buli kye balowooza nti baakukikola ate n’ebyebatadde mu nkola kisobozese n’ababa bazzeewo obutadda mabega.

Ssembajjwe Micheal nga y’akulira ekitongole kye by’obuwangwa mu Bugerere alaze nti enteekateena eno ebanjuliddwa minisita ebajjideyo ekifananyi ku butya bwe basobola okununula ebifo bya masaza eby’ennono.

Nanyange Jennifer akulira ekitongole ky’ebyobuwangwa mu Busujju anyonyodde nti enteekateeka eno bw’eneetekebwa mu nkola eby’obulambuzi byakututumuka nnyo okuva ku ddala webiri okwambuka waggulu.

LANGUAGE