Bya Samuel Stuart Jjingo
Kasensero – Buddu
Obwakabaka bwa Buganda buwabudde gavumenti eya wakati ekolagane ne ginnaayo eya Tanzania, okumalawo ettemu omufiira bannayuganda abavubira ku nyanja Nalubaale.
Katikkiro Mayiga bw’abadde alambula abantu ba Kabaka mu ssaza Buddu mu nteekateeka ya Situla Omutindo, ku mwalo e Kasensero, abavubi nga bayita mu Mulangira Joseph Kimera akola nga Ssentebe ku mwalo guno, bamuloopedde nti okuttibwa kw’abavubi ba Uganda n’okubbibwa kw’amaato ne yingiini zaago kuzzizza nnyo abantu ba Kabaka emabega nga kati buli mwaka yingiini z’amaato 100 n’omusobyo zibbibwa ne Kireka abantu ba mu kusoberwa, obweraliikirivu, okutya n’emirimu okugwawo eri abamu. Asabye Obwakabaka okusitula eddoboozi ku nsonga eno.

Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga gy’asinzidde n’asaba wabeewo okunonyereza okw’amangu ku mbeera y’obubbi n’ettemu erikolebwa ku bannayuganda abavubira ku nyanja Nalubaale. Agamba nti embeera eno bw’etakolebwako mu bwangu bantu bangi abajja okufiirwa obulamu bwabwe, kyongere n’okuzziŋŋamya emirimu ku nnyanja.
Katikkiro wano era ajjukizza abavubi okwewala mukenenya, abalabudde ku kunywa omwenge oguyitiridde n’ebintu ebirala ebiyinza okubaleetera okufuna akawuka kano, akalaatidde abavubi nti amasanyu ag’eddakiika entono ezitaliiko kwekuuma galeme kubakwasa siriimu waakiri bakozese ebimutangira.
Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko naye ajjukizza abavubi ku mitawana gy’okukwatibwa mukenenya olw’obulagajjavu, abategeezezza nti okuva Kabaka lwe yatandika ku lutalo lw’okumalawo mukenenya waliwo okugenda mu maaso, era abantu bazibuse amaaso ku ngeri y’okwewalamu obulwadde buno ate n’ababulina bongedde okutegeera bwe balina okweyisa obutakosebwa nnyo ate n’obutasiiga balala. Bwatyo asabye bannabizinga bano okuwuliriza eddoboozi lya Kabaka, okugoberera ebiragiro by’abasawo kibayambe okwetaasa ku lunabe luno.
Omwami wa Kabaka ow’Essaza Buddu Pookino Jude Muleke agamba bamaliridde okufufugaza akawuka ka mukenenya era yebazizza nnyo Bannabuddu abenyigira obutereevu mu misinde gy’Amazaliibwa ga Kabaka nga bagula emijoozi gy’emisinde ate era ne beetaba mu kudduka. Agamba nti emisinde tegikoma kunyumira bantu na kunyweza Bumu kyokka wabula n’okunnyikiza kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.

Mu lugendo luno Katikkiro awerekeddwako; Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Hajji Amisi Kakomo, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, n’abaweereza b’Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo.