Omuyimbi Karole Kasita akyaddeko Embuga: Katikkiro awabudde Bannabitone

Amawulire May 19, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Omuyimbi Carol Namulindwa amanyiddwa nga Karole Kasita akyadde embuga n’ayanjulira Katikkiro enteekateeka z’ekivvulu kye “The Power Within” ekiriyo ku lwokutaano nga 29 omwezi guno ku Serena Hotel mu Kampala.

Karole Kasita awerekeddwako Maama we, ab’enganda ne bakitunzi abali emabega w’ekivvulu kino.

Katikkiro ayongedde okukikaatiriza nti ekigendererwa ky’okusisinkana bannabitone kwe kwagala okubalaga obukulu bw’omulimu gwe baliko n’okubakubiriza okugukola n’obukugu basobole okugufunamu. Agamba nti okuyimba kufaananako n’emirimo emirala omuli; okusuubula, okusomesa, munnamateeka, nga obwakabaka bulina obuvunaanyizibwa okumanyisa bannabitone nti ekyo ky’akola mulimo era asaana agukole mu kitiibwa kubanga ekitone bwe busobozi omuntu bwaba nabwo okwesitula.

Kamalabyonna akubye bannabitone akaama nti copyright tejja kubayamba nga tebeefuddeko kukozesa bulungi ettutumu lye balina n’okwezuula obusobozi obubalimu olwo copyright emusanga yeteeseteese bulungi. Akubirizza abategesi b’ebivvulu okusasulanga abayimbi baleme kubeekwekako nga bamalirizza okuyimba ku bivvulu, agamba nti kino kittattana ekifaananyi ky’omulimo gw’okuyimba era kyoleka obutali bukugu mu bagukola.

Omuyimbi Karole Kasita yeebazizza obwakabaka bulijjo okubaaniriza embuga n’ekibazzaamu amaanyi ag’okutumbula ebitone by’abwe nga balambikibwa Obwakabaka.

Ssaalongo Robert Serwanga, Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, asinzidde ku bukugu omuyimbi Karole Kasita bw’alina obwa digiri mu by’enfuna n’agamba nti kikulu nnyo bannabitone okusoma basobole okwongera omutindo ku mulimo gw’abwe ogw’okuyimba.

Ensisinkano yetabiddwamu Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke.

LANGUAGE