Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Ssettendekero Muteesa 1 Royal University eyanjulidde Katikkiro ekikopo kyebawangula mu mpaka z’amatendekero aga waggulu ez’omwaka guno.
Bano bakulembeddwamu amyuka Ssenkulu Prof. Vincent Kakembo, Ssentebe wa Bboodi, abasambi ba tiimu eno, n’abayizi, okwanjula obuwanguzi bwabwe eri Kamalabyonna n’Obwakabaka.

Mu bigambo bye, Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde abasambi ba tiimu ya Muteesa amagezi nti nga baagala okuganyulwa mu kitone ky’abwe basaana bafuge etuttumu lyebatuuseeko, beewale okunywa omwenge, n’okwengedereza okwegatta n’abawala abatali bamu. Agyeyo amakulu ga eby’emizannyo n’ategeeza nti tebikoma mu kusanyusa kwokka wabula biyigiriza okwefuga, bizimba omubiri, bitumanyisa Ensi, bikuza ebitone, biwa emirimu, era ne gavumenti efunamu ensimbi.
Prof Vincent Kakembo, amyuka Ssenkulu w’ettendekero lino, ategeezezza nga okwetegeka obulungi bwe kwabayambye okutuuka ku buwanguzi bwe baatuuseeko.Yeebazizza obuvujjirizi okuva mu CBS FM, ne bbs Terefayina, olukiiko olufuzi, n’abawagizi ababaddewo mu kusaakanya n’okuzzaamu abazannyi amaanyi. Jjunju Eddie, kapiteni wa tiimu ya Muteesa University, yeebazizza bazannyi banne olw’amaanyi n’okwekkirirzaamu bye bataddemu ebibatuusizza ku buwanguzi, wamu n’abatendesi, abakulira ssettendekero ono, ne basomi bannaabwe abababeereddewo mu lutabaalo luno.

Muteesa okutuuka ku buwanguzi buno yamegga YMCA 1-0 ku mupiira ogwaliko n’obugombe ogwayindira mu kisaawe e Nakivubo, newangula ekikopo ky’ayo ekisookedde ddala mu mpaka zino.