Nkobazambogo Akalibaakendo bakubye akalulu okulonda abukulembeze baabwe abaggya

Amawulire Jun 04, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Abayizi b’amasomero ag’enjawulo aga siniya abeegattira ku kibiina ki Baganda Nkobazambogo Akalibaakendo bakuŋŋaanidde ku Bulange e Mmengo okulonda obukulembeze bwabwe obw’omutendera gw’eggwanga lyonna.

Ebifo kummi na bitaano(15) bye bironderwako abakiise okuva ku masomero agenjawulo okuli Ssentebe n’omumyuka we, omukubiriza w’olukiiko, akulira abakyala, ow’ebyenjigiriza, akulira ebyobuwangwa, ow’ebyemizannyo, n’ebifo ebirala.

Mu nkola empya eyayanjulwa Minisitule y’Abavubuka, abayizi ab’enjawulo abali mu bukulembeze bwa Nkobazambogo mu masomero gaabwe, beesimbawo ku bifo bino 15, olwo abantu ababiri ku abasinze okufuna obululu amannya gaabwe gatwalibwa mu lukiiko oluluŋŋamya ebibiina by’abavubuka okusunsula abo abagwanidde okulya ebifo eby’enjawulo. N’olwekyo oluvannyuma lw’akalulu Bannankobazambogo ke bakubye leero, balindirira ebyenkomeredde okuva mu Minisitule ebatwala.

Minisita w’abavubuka mu Bwakabaka Oweek Robert Serwanga Ssaalongo asinzidde wano n’asaba abayizi abegwanyiza okukulembera bannaabwe okukulembeza okubawa ekitiibwa nga babawereza kubanga obuweereza buvunanyizibwa.

“Obuweereza ssi kitiibwa wabula buvunanyizibwa era bw’oba obufunye olina obukozesa nga ow’obuvunanyizibwa era olina engeri gy’oteekwa okw’eyisaamu, nze omukulembeze mmanyi aba musukkulumu ku banne okussuka ku kusoma era omukulembeze waffe tasemba mu kibiina” Minisita Serwanga bw’alambise abayizi.

Minisita Serwanga asabye abayizi okumanya nti mu masomero bali mu kuteekebwateekebwa kufuuka bakulembeze ba muzinzi n’abakuutira obuteebalama bifo bya bukulumbeze, bawulirize nnyo abayima baabwe kubanga babateekateeka okuyingira obuweereza obwa waggulu nga baggumidde bongere omuwendo ku mirirmu gy’Obwakabaka n’eggwanga okutwaliza awamu.

Ssentebe wa Nkobazambogo ku Kirumba High School mu Buddu, Kaweesi Julius alaze essuubi mu bakulembeze be balonze nti bajja kusobola okutwala abavubuka mu maaso okuyita mu mirirmu egibatumibwa Ssaabasajja naddala nga batambulira ku nsonga ssemasoga ettaano.

Kigongo Grace okuva mu Mother Kevin College Mabira nga avuganyiza ku kifo ky’ow’ebyenjigiriza, alaze nti abamu ku bayizi banne tebalina busobozi kweyongerayo na misomo gyabwe gya waggulu kale nga aluubirira okumanyisa bayizi banne emyaganya Ssaabasajja gy’abateereddewo okuli zi bbasale ku matendekero aga waggulu basobole okumaliriza emisomo gyabwe.

Abayizi ab’enjawulo bawadde ebirowoozo byabwe ku nsonga z’obukulembeze n’ebyo bye basuubira mu be balonze era bategeezezza nti besunga okuwulira amannya gaabo abanaasukkuluma ku bannaabwe abanaabakulembera mu mwaka gwa 2026/2027.

Minisitule y’Abavubuka esuubirwa okulangirira olukiiko oluggya olwa Nkobazambogo Akalibaakendo nga 19 Ssebaaseka 2026, era omukolo gusuubirwa okubeera mu Bulange e Mengo nga kw’olwo abanaalangirirwa lwe bajja okukuba ebirayiro.

LANGUAGE