Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Ng’ebula mbale empaka z’Amasaza ga Buganda zitandike, Obwakabaka okuyita mu Minisitule y’Abavubuka, emizannyo n’ebitone butegese emisomo eri abakulembeze ku nkiiko za ttiimu z’amasaza.
Gyebuvuddeko, Obwakabaka bwatendeka abavubuka abavunanyizibwa ku butevenkevu ku bisaawe, era enteekateeka eno yetoolozebwa mu masaza ag’enjawulo, ate leero mu Bulange e Mengo ye wategekeddwa emisomo eri abasawo n’abamawulire ku nkiiko za ttimu z’Amasaza gonna 18. Abasomesa ab’enjawulo baliko emisomo ku nsonga ezitali zimu gye bawadde abo abeetabye mu nteekateeka eno okulaba nga sizoni egenda okutandika nga buli kye bakola, bakikola na bukugu era nga bakirinako okumanya.

Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo y’agaddewo emisomo gino era aliko obubaka bw’asibiridde abagyetabyemu.
“Omukisa gwe tulina omulundi guno, nti buli lwe tuwulira nti waliyo omuzannyo, naffe tubeera tufunye omukisa okulaga nti waliwo kye tulinamu obukugu okukola, era buli alina ky’okola mu mpaka z’omwaka guno ekinaakutunda eri ensi ssi linnya lyo, abantu bagenda kukunonya olw’omulimu gw’okola” Minisita Serwanga.
Ategeezeza nti musanyufu n’ebyo by’alabyeko okuva mu nkambi za ttiimu z’Amasaza ez’enjawulo wakati mu kwetegekera empaka z’omwaka guno. Owek. Serwanga agamba nti buli lwe wabaayo omupiira, oyo ali ku kisaawe y’asiiga ekifaananyi eri oyo atagenze ku kisaawe. Bwatyo asabye buli avunanyizibwa ku nsonga ez’enjawulo okukola ekisikiriza abantu okujjumbira okugenda ku bisaawe.
Minisita Serwanga asabye ab’amawulire ku Masaza okufuba okumanyisa abantu buli kintu ekifa mu nkambi zaabwe, wabula kino nga bakikola mu mbeera esitula ekifaananyi ky’empaka sso ssi kuzikakkanya. Akikaatiriza nti oyo anaafuba okukola ebigatta ku mpaka z’amasaza tajja kukoma kusitula mpaka, wabula essaza lye lijja kusituka ate naye ng’omuntu asituke.
Ku ludda olw’abasawo, Minisita Serwanga ategeezeza nti empaka zijjidde mu kiseera nga eggwanga lisoomoozebwa ekirwadde kya Ebola, kale nga bateekwa okufaayo okulaba nga abasambi n’abwagizi bagoberera ebiragiro by’abakugu okutangira obulwadde. Takomye okwo, asabye abasawo ba ttiimu okufaayo ku bulamu bw’abazannyi bakole ebintu ebituufu mu kiseera ekituufu naddala nga bafuba okuteekawo buli kyetaagisa okubeera ku kisaawe ku lunaku lwe wabaayo emizannyo.
Ye Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka empaka z’Amasaza Omuk. Sulaiman Ssejjengo yebazizza bonna abawaddeyo ebiseera okwetaba mu kutendekebwa, n’abasaba okuteeka mu nkola bye basomeseddwa n’okwewala ensonga yonna eyinza okuviirako ekifaananyi ky’empaka Kabaka ze yatandikawo ate okukkakanyizibwa.
Ssejjengo akubirizza abantu ba Buganda okwetegekera empaka z’omwaka guno, bawagire amasaza gaabwe, okuzzaamu abazannyi amaanyi n’okuwagira ttiimu zaabwe mu ngeri zonna ze basobola.

Empaka z’omupiira gw’amasaza zaakutongozebwa nga 10 Ssebaaseka mu Bulange e Mengo ate omupiira oguggulawo gwa kubaawo nga 13 Ssebaaseka, 2026 e Buweekula nga bannantameggwa b’empaka zino omwaka oguwedde aba Buweekula bambalagana ne Kyaddondo.