Abasuubuzi b’emmwanyi za Africa tubasikirize okuzigula buli kiseera – Owek. Nsibirwa

Amawulire Jul 15, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Munyonyo – Kyaddondo

Obwakabaka busabye abakulira eby’obusuubuzi bwa kaawa ku Ssemazinga w’Afrika okukola obutaweera okusikiriza abasuubuzi b’emmwanyi z’Afrika okuzigula buli kaseera.

Obubaka buno, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa abuweeredde ku mukolo gw’okutongoza olukuŋŋaana n’omwoleso gwa Africa Fine Coffees olwa 23 awamu ne ssabiiti ya Kaawa w’Afrika ey’okuna (23rd African Fine Coffees Conference & Exhibition and the 4th African Coffee Week) oluyindidde ku Speke Resort e Munyonyo.

Olukuŋŋaana luno lwe lusinga obukulu ku by’obusuubuzi bwa kaawa ku ssemazinga w’Afrika nga lukuŋŋaanya abalimi ba kaawa, abatunda kaawa ebweru w’eggwanga, abagula kaawa, abakola enteekateeka za gavumenti n’ensi endala okuva mu mawanga g’Afrika n’okwetolola ensi yonna.

Olw’obukulembeze obwenjawulo Obwakabaka bwa Buganda bwe bulaze mu kusitula okulima emmwanyi n’okutumbula embeera y’abalimi, ekitongole kya African Fine Coffees Association (AFCA) kisabye Obwabakaba okuwaayo endowooza yaabwo nga bugoberera omulamwa ogugamba nti: “Okunyweza Enkolagana Ezisukka Ensalo – Endowooza y’Obwakabaka bwa Buganda.

Oweek. Waggwa agamba nti ekibiina kino kiteekwa okukola buli kiseera olwo abakiise bwe batuuka ku nkugaana nga bamaze dda okwetegekera obusuubuzi, nga n’abaguzi n’abateeka ensimbi beetegefu okukolagana nabo. Wano wasabidde baggulewo omukutu ogw’omulembe gwa digito ogugatta abantu bonna mu mulimu gwa kaawa.

“Omukutu ogwo gulina okugatta omuvubuka atandika bizinensi, omukazi akola ku kaawa n’abaguzi ab’ensi yonna mu nkolagana eyesigika era ey’omugaso.” Oweek. Waggwa.

Oweek. Nsibirwa agamba nga Obwakabaka buyita mu pulogulaamu ya Mwanyi Terimba busobodde okutumbula amakungula ga kaawa okuva ku mutindo ogwaliwo okutuuka ku nsawo ezisukka mu bukadde buna buli mwaka.

“Okusimba kaawa kye kitandikirwako, kyokka okutuuka ku buwanguzi obw’amazima kyetaagisa okumulondoola, okumukuuma n’okuweereza abalimi obuyambi obw’ekikugu okusobozesa ebirime okukula ne bifuuka emiti egivaamu amakungula amalungi. Omutindo gwa kaawa tegutandikira mu kukebera buwoomi bwayo bwokka; gutandikira ku nnimiro. Obungi bw’amakungula buyinza okukuggulirawo akatale, naye omutindo gwe gukukuumira ku katale ako,” Omuwanika.

Oweek. Nsibirwa ayogedde ku nkyuukakyuka ey’amaanyi ereeteddwa okulima emmwanyi eri abakazi n’abavubuka mu Buganda nateegeza nti mu pulogulaamu ez’enjawulo ez’omu bitundu, obuyinza bw’abakazi mu kusalawo ku by’obulimi n’obwannannyini bw’ebintu bweyongedde okuva ku bitundu 14 ku kikumi okutuuka kumpi ku bitundu 90 ku kikumi.

Mu ngeri y’emu, n’abavubuka balabye omukisa mu mulimu gwa kaawa nga bangi ku bwo batandise ennimiro ezikakasa ensigo nga bakozesa tekinologiya okulondoola kaawa okuva ku nnimiro okutuuka ku katale nga n’abalala bafuuse abakugu mu by’obulimi.

“Ennamba zino zitegeeza obulamu bw’abantu obukyusiddwa. Abakazi bangi abali mu bibinja eby’okutereka n’okwewola (Village Savings and Loan Associations – VSLAs), abaali beerabirira ddala ku baami baabwe, leero bakozesa ssente za kaawa okugula ebintu ebyabwe, okufuna ettaka mu mannya gabwe, n’okusasula amasomero g’abaana n’obujjanjabi bw’amaka gaabwe.” Oweek. Nsibirwa.

Omukolo guno gutongozza olukungaana olw’okubaayo mu gw’okubiri omwaka ogujja nga gwetabiddwako Minisita Omubeezi ow’Obulimi mu gavumenti eyawakati Hon. Desire Muhooza n’abakungu ab’enjawulo okuva mu gavumenti n’ensi yonna.

LANGUAGE