Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Bannamateeka abaakamaliriza emisomo gy’abwe ku Law Development Centre bakubiriziddwa okwewala obukenuzi n’obukumpanya bwe baba baagala okwenyumiriza mu mulimu gwabwe.

Bw’abadde ayogerako ne bannamateeka bano abakyali abato mu kisaawe kino mu nsisinkano ebadde ku Bulange, Minisita w’ettaka n’Ebizimbe mu Bwakabaka nga naye munnamateeka, Oweek Daudi Mpanga bano abalaze obuvunaanyizibwa bwa munnamateeka obukulu nti bwa kuyamba na kumalawo kizibu ekisomooza omuntu, olwo omuntu oyo n’afuna essanyu era n’asigala nga yenyumiriza mu buweereza bwa munnamateeka.
Owek. Mpanga agamba bannamateeka bangi beeyambisa omulimu gwabwe okunyunyuta abantu n’okubabbako ebyabwe ekintu ky’agambye nti kittattanye nnyo ekifaananyi kya bannamateeka abantu ne babajjamu obwesige, bw’atyo asabye bannamateeka abato obuteefuula ba kondo kubba bakama baabwe kuba bino si byebaasomerera era bwe bagenda mu maaso n’enkola eyo emirimu giyinza okubaggwako kampuni bweggalawo. Wabula Oweek Mpanga agamba omulimu gwa munnamateeka mulungi era gusasula bulungi oli bwagoberera amateeka aga gufuga, n’obwerufu.
Oweekitiibwa Daudi Mpanga abasibiridde entanda okubeera abaweereza abeesigwa, babeere mikwano gy’abo ababawa emirimu, beewale obukenuzi, era basome nnyo ebitabo boogiwaze obwongo, era bakimanye nti okuvuganya wekuli naye bafube kugaziya ku kumanya kwabwe nga tebasuuliridde tekinologiya era batambule n’enkyukakyuka.

Bannamateeka bano abato bakulembeddwamu Kakumba Nelson, munnamateeka ku lukiiko lwa Ssekiboobo e Kyaggwe, ku lwa banne bebazizza entanda ebaweereddwa n’agamba nti ya kubayambako okuyingira mu kisaawe kino nga bavumu era nga bamalirivu.