Bya Gerald Mulindwa
Agafa Embuga
Buganda etambula edda mu maaso newankubadde nga waliwo ebisoomooza.
Abantu ba Buganda abawangaalira ebweru w’eggwanga bakubiriziddwa okwewala abasekeeterera Obwakabaka n’obutabawa budde olwo bye boogera bibakalire ku mimwa.
Bino byogeddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru Oweek Joseph Kawuki, bw’abadde asisinkanye abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu ssaza ly’e Bungereza ne Ireland mu musomo ogutegekeddwa ku mutimbagano gwa “Zoom” mu kanyomero ka “Agafa Embuga”.
Minisita Kawuki agamba nti waliwo abantu abeesomye okusanyawo obuwangwa, ennono n’ebintu ebikoleddwa Obwakabaka nga bakozesa omwagaanya ku mikutu gy’okumutimbagano kwe basaasaanyiza obubaka obuwebuula ekitiibwa kya Nnamulondo nga basasulwa n’ensimbi okukola omulimu guno.

Wano w’asabidde abantu ba Kabaka ab’ebweru w’eggwanga obutawa bantu bano budde wabula babusaabulule nga Ssaabasajja Kabaka bweyatulagira.
Oweek. Kawuki asinzidde mu lukungaana luno n’ategeeza abantu ba Kabaka bano ku by’omuwendo Obwakabaka bwebituuseeko wakati mu kusomoozebwa omuli amasomero agatandikiddwawo okuganyula abaana abato, amalwaliro agasembezza obujjanjjabi ku bantu ba Beene n’ensiisira z’ebyobulamu ezisomesa abantu okubeera obulindaala ku ndwadde ez’enjawulo, eby’enfuna by’Obwakabaka okweyongera nga buyita mu kaweefube w’okulima n’okuzza obuggya ekirime ky’emmwanyi;

Ssaabasajja Kabaka okuwayo kalakita eri amasaza attaano n’ebintu ebirala nkumu Obwakabaka bwe bituuseeko.
Minisita era yebazizza nnyo abantu b’e Bungereza olw’obwagazi bwe balina eri Kabaka wabwe n’obujjumbize eri enteekateeka z’Obwakabaka nga Oluwalo, enkungaana zebakola ebweru ezibasobozesezza okubeera obumu.
Omusomo guno gukubiriziddwa Omwami wa Kabaka ow’essaza Bungereza Oweek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka, ono akunze abantu bonna abawangaalira ebweru wa Uganda okufaayo okumanya obuwangwa bwabwe kubanga kye kibafuula kye bali.