Abenzikiriza ya Emuka Bajjukidde Abazira Abaasima Omusingi Gw’obuwangwa

Amawulire Oct 10, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke akubirizza abantu obutabuzibwabuzibwa nkola z’abazungu wabula banyweze obuwangwa n’ennono zaabwe kubanga bino bye bibafuula ab’enjawulo ku balala era bayiiye n’engeri gye bayinza okulinyisa omutindo, n’okwekulaakulanya nga bayita mu buwangwa n’enonno. 

Oweek. Kitooke, okwogera bino abadde ku kitebe ekikulu eky’enzikiriza ya EMUKA Evangelism oba Enzikiriza y’Omuntu ne Katonda we ku lusozi Kyotamugavu e Bamunanika mu Bulemeezi nga bajjukira abazira abaatandikawo enzikiriza eno ekunukkiriza okuweza emyaka 40.

Minisita yeebazizza nnyo abakkiriza mu nzikiriza eno ey’obuwangwa olw’okusitula omutindo gw’enzikiriza n’okutandikawo enkulaakulana gamba nga eddwaliro eriri ku mutindo n’okuteekateeka obulungi ebigobererwa mu kusinza. 

Omumbejja Luwedde Kisakye Nakayima ng’ono yayogedde ku lw’abatume b’enzikiriza eno akubirizza abagoberezi babwe okuyayanira ebintu eby’omugaso basobole okuleka omukululo omulungi.

Omukolo gwetabiddwako Ssenkulu w’ekitongole ky’ebyobulambuzi Omuk. Najib Nsubuga, Ssekiboobo omuwummuze Oweek. Elijah Boogere Lubanga Mulembya, atwala eby’obuwangwa mu Bulemeezi Omw. Ssempijja Samuel n’abaweereza abalala.

Oweek Israel Kazibwe Kitooke n'abenzikiriza ya Emuka Evangelism e Bamunanika, Bulemeezi.

LANGUAGE