Aba Kazo Archdeconry bawagidde omulimu gw’okutuusa eddwaliro eriseeyeyeza ku mazzi

Amawulire Aug 18, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Obusaabadiikoni bw’e Kazo mu bulabirizi bw’e Namirembe bukyadde embuga okubaako ebigambo eby’amakulu bye bufuna mu kulambikibwa okuva ewa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, ate nabo okumutegeeza ku nteekateeka zaabwe mu buweereza omuli okubunyisa enjiri erimu ebyobulamu, ebyenjigiriza, n’okunyweza polojekiti z’ekkanisa, okwongera ku mutindo gw’enkozesa ya tekinologiya.

Katikkiro Charles Peter Mayiga wano w’asinzidde n’asaba abakulembeze okukulembeza ensonga eziganyula omuntu wa bulijjo asobole okukyuusa embeera z’obulamu bwe, omuli; eby’obulamu, eby’enjigiriza n’ebyenkulaakulana.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, obubaka buno obwogeredde mu nsisinkano n’abakulembeze ba obusaabadiikoni bwe Kazo mu bulabirizi bw’e Namirembe, abakulembeddwamu omukubiriza w’obusaabadiikoni buno, Omulangira Lutimba Benjamin Mutebi.

Mukuumaddamula ategeezezza nti omukulembeze alina okulowooleza baakulembera nga atema empenda ezibavuunusa ebizibu, ateekesa mu nkola ebyo byayiyizza wabula nga asoose kwebuuza ku bamutwala, era n’alondoola byatadde mu nkola, n’anyweza ebyo ebitambudde obulungi ate n’agolola ebikyamye. Agamba ekisinga okukaluubiriza mu bukulembeze bwe butasalawo, era omukulembeze yenna alina okuba omuvumu okukola ekituufu yadde mubaamu abanyiiga.

“Obukulembeze obutuufu bulina okufaayo ku by’obulamu bw’abantu, abaana mu busaabadiikoni nga basoma, ate n’okuteekawo polojekiti ez’enkulaakulana.” Katikkiro bwatangaazizza.

Omulangira Lutimba Benjamin Mutebi, Omukubiriza w’obusaaabdiikoni bw’e Kazo, yeebazizza obwakabaka olw’enteekateeka y’amatikkira ennungi, okusomesa abantu nokubakubiriza okulima emmwanyi, era mu buwufu obwo baasalawo enteekateeka z’obwakabaka ezikulaakulanya abantu okuzibunyisa mu bagoberezi ba kristo batambulire wamu n’enteekateeka ezo.

Venerable Canon David Mpagi Ssaava, Ssaabadiikoni we Kazo, ategeezezza Katikkiro ensonga esinga okubatawaanya ya byanjigiriza, agamba abaminsani bajja n’ebyenjigiriza, naye abantu basudde eby’enjigiriza nebagendera ku kuwubisibwa kwa bannabyabufuzi nti okusoma kwa bwereere ne bagaana abazadde okuwayo akatono abaana baabwe bafune obugi n’ebyokulya ku ssomero, ye ky’agambye nti kiremesa eby’enjigiriza okulinnyisibwa ku mutindo.

Bano bawagidde kaweefube w’okufuna eddwaliro ly’okumazzi erinaakozesebwa abantu be Ssese ne Buvuma, n’akakadde kamu n’ekitundu (1.5m).

LANGUAGE