Bya Gerald Mulindwa
Ssingo

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ayagala abazadde mu kaseera kano ak’ebibuuzo obutagezaako kutegeeza baana bifa mu byalo naddala nga byeraliikiriza kuba bino bisobolera ddala okukosa amakungula mu bibuuzo eby’akamalirizo.
Minisita Kawuki abadde ku Mumsa High School e Mityana, mu kusabira abayizi ba S.4 ne S.6 kwossa n’okukyusa obukulembeze bw’abayizi mu nzikiriza zaabwe ez’enjawulo.
Oweek kawuki ategeezezza abayizi nti newankubadde balaba nti obudde bulinga obuweddeyo kyokka bwebukozesebwa obulungi bumalira ddala omuntu okutereeza ebikyamutawaanya kuba buli kabonero kebafuna kalina kinene kyekakyuusa. Bano abajjukizza nti obuwanguzi tebugwa bugwi nga nkuba wabula balina okubukolerera.
Ye Omukungu wa Buganda Twezimbe Charles Ssali, akuutidde abazadde okufaayo naddala ku baana ob’obuwala kuba bangi ensangi zino bonoonese nnyo.
Ate Rev. Fr. John Richard Ssemmambo, akulembeddemu okusaba mu bayizi abakatoliki era nga ye bwanamukulu wa Naama Parish, abakuutidde okwewala ebiyinza okubajja ku mulamwa omuli okulowooleza mu kubba ebibuuzo oba okukusa obusimu obutakkirizibwa mu masomero.

Ye Rev. William Ssejjemba akulira Naama Church of Uganda era akulembeddemu okusinza mu bayizi abakulistaayo, akubirizza abayizi okwekwasa Katonda nnyini byonna lwebanaatuuka ku buwanguzi.
Wabaddewo n’okusabira abayizi mu nzikiriza y’Abayisiraamu, mu Balokole ne Seventh-day Adventist Church ng’enteekateeka zonna zitambudde mu kiseera kye kimu