Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga yebazizza abantu ba Buganda olw’okuvvujirira emirimu gy’Obwakabaka nga bayita mu luwalo.
Bino bibadde mu bubaka bw’atisse Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke bw’abadde atikkula oluwalo olusobye mu bukadde attaano (50) oluvudde mu masaza; Busiro, Kyaddondo, Kkooki, Bulemeezi, Kyaggwe ne Cape Town okuva e South Africa.

Minisita Kazibwe alambululidde Obuganda nti omwaka guno, Omuwanika yayisa embalirira y’Obwakabaka awamu n’entebya nga mu yo mwalimu engeri ssente gye zigenda okusaasanyizibwamu omuli; okuddaabiriza Embuga, okussanyaawo obwavu mu bantu ba Kabaka nga buyita mu nteekateeka nga Mmwanyi Terimba, okuzimba enzizi mu buli ssaza lya Buganda n’ebirala. Agamba bino byonna bisobose okubaawo olw’abantu abaleeta oluwalo kubanga balaba ssente zaabwe we zigenda.
Minisita Kazibwe ayogedde ku mikago egikoleddwa Obwakabaka omuli ogwa Airtel ne K2 okutumbuula eby’empuliziganya, BUCADEF ne Stanbic Bank okuzimba Ssemaduuka mu buli ssaza okutumbula ebbeeyi y’ebirime mu Buganda n’emirala mingi nnyo. Agamba nti gino gagyo giyambye nnyo mu kuvujjirira emirimu gy’Obwakabaka.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki asabye abakyala mu Buganda okwewala okutwalirizibwa ebintu ebibasikiriza okwetaba mu bikolwa eby’omukwano nga tebekebezza n’abantu bebegatta nabo kyayise eky’obulabe eri obulamu bwabwe.

Omugabe, Omwami w’essaza Kyaddondo Owek. Ahmed Matovu Magandaazi asabye abantu ba Buganda okubeera abanyiikivu nga bakola ebyo ebibagambibwa okuva Embuga.
Oluwalo luno lwetabiddwako abantu b’enjawulo omuli; Omulangira w’Ekkooki Omulangira Nelson Lubambula, Kaggo Hajj Ahmed Matovu Magandaazi, Omukwanaganya w’Esaza Kkooki Oweek. Gertrude Ssebuggwawo, bannabyabufuzi n’abantu abalala bangi nnyo.
