
Bya Samuel Stuart Jjingo
Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke akyaddeko ku leediyo 90.4 Dembe FM mu Pulogulaamu Ziwenje
Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Minisitule y’Amawulire bwongera okunyweza enkolagana n’emikutu gy’amawulire egy’enjawulo nga bukola enteekateeka okugikyalira ate n’okuyisizaako eddoboozi okwongera okumanyisa abantu ba Beene enteekateeka ezibeera ziriwo olwo bongere okuzitegeera n’okuzijjumbira.
“Ssaabasajja Kabaka mu kuteekawo minisitule y’Amawulire n’Okukunga abantu yayagala abantu be tubatuukeko yonna gye bali, bamanye ebifa Embuga era babijjumbire” Minisita Kazibwe.

Minisita Kazibwe ayogedde ku nteekateeka y’oluwalo oluleetebwa embuga okuva mu Masaza ga Buganda, ensiisira z’ebyobulamu, okuwagira ebitone by’abantu ba Kabaka okugeza ng’okukyaza abayimbi ne bannakatemba, eby’obufuzi mu Uganda, olulimi Oluganda, eby’emizannyo n’ebirala.
Owek. Kitooke agamba nti newankubadde Obwakabaka bulina emikutu egyabwo CBS FM ne BBS Terefayina, tekigaana kwongera kutambula na mikutu mirala n’okugiwagira kubanga Obwakabaka bugatta abantu ab’enjawulo era bubatusaako obuweereza yonna gye bali. Ategeezeza nti enteekateeka y’okukyala ku mikutu gy’ebyempuliziganya egy’enjawulo yakugenda mu maaso okutuuka ku mikutu egy’enjawulo.
Pulogulaamu ya Dembe FM, Owekitiibwa Kazibwe kw’akyaziddwa eweerezebwa Shamie Ssekatawa (super lady) ne Sseruwagi Ivan (Aiva de Dr). Ddembe FM mukutu gwa byampuliziganya oguddukanyizibwa Nation Media Group omugwa NTV, Daily monitor, n’emikutu gy’amawulire egiwerako.