
Bya Pauline Nanyonjo
Mengo – Kyaddondo
Abantu ba Kabaka okuva mu Masaza Busujju, Busiro, Kyaddondo, ne bannamutimbagano bawagidde emirimo gya Kabaka n’obukadde obusobye mu 65.
Amasazza okuli Kyaddondo,Busujju, ne Busiro gegaleese obukadde 65,670,000/- mu luwalo nga bagenderera okuwagira emirimu egikolebwa embuga ku Bulange e Mmengo nga lutikuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga awerekedwako sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ne minisita Noah Kiyimba.
Katikkiro asinzidde mu Luwalo luno ne yebaza abantu ba Kabaka okuleeta oluwalo n’akikaatiriza nti enjovu tesobola kulemererwa masanga gaayo, tetusobola kulemererwa kutambuza mirimo gya Kabaka kubanga tuli bangi, tulina okubaako kyetukola yadde tubanja ebintu byaffe naye tulina okusigala nga tukola.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka, n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asabye amasaza gonna okwongera okugoberera ennambika eyabaweebwa basobole okukola emirimu mu ngeri esinga okuba ey’omulembe.
Omwami wa Kabaka ow’esazza Busujju Oweek Israel Lubega Maaso, aweze nti essaza Busujju lya kwongera okutambuza emirimu gya Ssaabasajja mu ngeri ey’ekikugu awatali kwe kubagiza basobole okuzza Buganda ku Ntikko.Eggombolola ezikiise embuga ze zino;
Mutuba I Nangabo 17,410,000/-, Mutuba 5 Kawempe 12,000,000/-, Ssaabagabo Kakindu 12,670,000/-, Ssabawaali Butayunjja 3,500,000/-, Ssaabaddu Malangala 1,000,000/-, Mumyuka Wakiso 4,200,000/-, Mumyuka Maanyi 8,300,000/-, ne bannamutimbagano aba Buganda Yiyo Buganda Yange 4,000,000/-.