
Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka ow’Okubiri ow’essaza Northwest Pacific America, Omulangira James Walugembe, akiise embuga n’awayo alipoota eraga emirimu nga bwegikolebwa mu Ssaza lino.
Oweek. Kawuki ng’akwasiddwa alipoota eno, yebazizza Oweek. Moses Ggayi Mayanja akulembera essaza lino ne baakulembera olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu bunyikivu n’okwewayo nga bakola ebintu ebizimba Obwakabaka.
Minisita Kawuki akoowodde abantu ba Kabaka okubaako obuweereza bw’Obwakabaka bwe bakola nga basinziira mu bitundu gye bali bafube okulaba nga Buganda edda ku ntikko.
Omulangira James Walugembe ategeezezza nti buvunaanyizibwa bwabwe ng’abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru wa Buganda okukiika embuga okwongera okumanya ku bintu eby’enjawulo omuli obuwangwa, ennimi, enneeyisa y’abaana mu maka n’ebirala.