Abatikkirwa mukozese obuyiiya okweyimirizaawo

Amawulire Oct 25, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Nkumba – Busiro

Obwakabaka bwa Buganda bukubirizza abayizi abatikkirwa okufuba okuyimirirawo ku lwabwe awatali basomesa babwe, wabula beyambe amagezi ge bafuna mu ssomero okuwangula Ensi.

Bino bibadde mu bubaka Minisita Noah Kiyimba bw’awadde bw’abadde akiikiridde Katikkiro ku kutikkira g’abayizi ku ssetendekero ya Nkumba mu Busiro ag’omulundi ogwa 27, omukulo gukulembeddwamu Cansala wa yunivasite eno Omuk. Rtn. Emmanuel Katongole.

Minisita Kiyimba agamba nti omulamwa gw’amatikkira gano okubadde nti, “Okusumulula obusobozi nga buva ku bisomeddwa okudda mu kukulembera” mulungi nnyo nga gugendereddwamu okufuna abakulembeze ab’embala nga ba nsa ate nga besigika okumaliriza emirimu egibawereddwa abantu ab’enjawulo.

Minisita agamba nti Obwakabaka buludde nga bukolagana ne yunivasite eno nga yatandikibwawo abantu ba Ssaabasajja Kabaka abalengerera ewala okulaba nga kati yunivasite evuddemu abayizi abasoba mu mitwalo ena okutuusa olwa leero nga ate abayizi bakola bulungi gye bali.

Minisita Noah Kiyimba owa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro

Ye Omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti y’Eggwanga Rt. Hon. Thomas Tayebwa abotodde ekyama nti gavumenti eya wakati etandise enteekateeka ey’okutandikawo ensawo ey’enjawulo eyambako obukadde n’obukadde bw’abayizi abamaliriza okusoma buli mwaka nga yakubayambako okutekesa mu nkola bye basoma okusinga okudda ku nguudo nga banoonya emirimu ekireetedde n’abamu kubasoma okukyawa ekyabatwaza mu masomero.

Rt. Hon. Tayebwa agamba nti abasomye bangi mu Uganda naye bangi tebafuna mirimu gye basomeredde era ensawo eno egenda okutekebwawo yakubayamba okutekesa mu nkola ebyo bye basomye naddala abo abanaaba balemereddwa okufuna emirimu gye basomeredde.

Ye amyuka Cansala wa Ssetendekero ono, Prof. Jude Lubega asinzidde ku matikkira gano n’akakasa abatandisi ba ssetendekero ono, abakozi, abazadde n’abayizi nti olugendo lwe bakutte luwanvu okuggya yunivasite eno weeri okwongera okugiwanika omutindo.Ssetendekero eno yatandiika mu 1994 nga yakatikkira abayizi abasoba mu 40,000 omuli n’abakuguse mu diguli esembayo.

Mu bayizi abatikiddwa olwaleero 2087, abayizi 25 bafunye diguli ey’okusatu, 418 ba diguli eyokubiri, 1025 ba diguli esooka, diploma awamu ne “certificate.

Abagenyi ab’enjawulo omuli Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Thomas Tayebwa, Minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda, ababaka ba palamenti, ebikonge bingi okuva mu gavumenti ey’awakati, abakulira amatendekero agawagulu n’abantu abalala bangi betabye ku mukolo guno.

LANGUAGE