Bya Gerald Mulindwa
New England USA – Boston
Ab’e Boston bakuzizza olunaku lwa Buganda olw’omwaka 2026.
Olunaku luno lukuzibwa buli mwaka okujaguza ennono n’obuwangwa bw’Abaganda, okujjukira ameefuga ga Buganda, n’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka.

Enteekateeka z’omulundi guno ziwoomeddwamu omutwe aba Ggwanga Mujje Boston Chapter, ekibiina ekigatta bannayuganda mu Ssaza New England USA. Olunaku lwa Buganda gwe gumu ku mikolo emikulu ena, Ggwanga Mujje Boston gy’etegeka buli mwaka.
Olunaku luno, abantu ba Ssaabasajja Kabaka basisinkana nga ab’oluganda, nebajjukiza abaana abakulidde ebweru wa Buganda okumanya ensibuko y’abwe. Ebimu ku byakoleddwa ku mukolo guno, ke kanyomero k’ebibuuzo ebikwata ku Luganda, Buganda, ennono n’obuwangwa, akaakubiriziddwa Dr. Ssebuwufu William Kamirante, Omuwala Serena Nakazibwe, ow’e Nnyonyi Nakinsige, ye yawangudde engule bwe yasinze okumanya ebifa ku Buganda mu ttuluba ly’abato.

Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza New England USA, Oweek. Henry MatovuNdawula, asinzidde ku mukolo guno neyeebaza abantu ba Ssaabasajja Kabaka okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka n’okugiwagira okusinziira buli omu ku busobozi bwe.
Mu bubaka bwe obwayisiddwa ku mutimbagano, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, akulisizza ab’e Sssza New England USA, okutuuka ku lunaku luno kwe bakungaanira nebeewunaganya ku bikwata ku buwangwa bwabwe, wabula n’abajjukiza nti obwakabaka bulumbibwa nnyo abasekeeterezi ab’omunda n’abe bbali era nga bakozesa emitimbagano okuwebuula Beene, n’Obwakabaka, wano w’asinzidde n’abasaba okwewala ebyo ebiyinza okuleetawo enjawukana, omuli; eddiini, eby’obufuzi, n’ebiringa ebyo.

Mu ngeri y’emu Oweek Kawuki akubirizza abantu ba Ssaabassajja Kabaka mu Boston okuwagira enteekateeka y’okusonda ensimbi z’okugula eddwaliro ly’okumazzi erinaayamba abantu b’oku bizinga by’e Ssese ne Buvuma okufuna obujjanjjabi obwannamaddala.
Anokoddeyo ezimu ku nteekateeka Ssaabasajja Kabaka zaakoze mu kusitula omutindo gw’embeera z’Abantu be; amasomero ga nassale 20, amalwaliro 5, enzizi z’amazzi amayonjo ezisukka mu 1000. Okumanya enteekateeka z’obwakabaka nga bwezitambula, Oweek. Joseph Kawuki abasabye bettanire emikutu gy’Obwakabaka emitongole okuli; Gambuuze.ug, CBS, BBS, n’egy’obwakabaka.

