Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda buzzeemu okusaba gavumenti eya wakati okukendeeza emisolo egiteekebwa ku matendekero g’ebyemikono.Okusaba

kuno kukoleddwa Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba bw’abadde yetabye ku mukolo gw’okwolesa emisono ku Buganda Royal Institute e Mmengo – Kakeeka.
Minisita Kiyimba atenderezza omutindo ogw’oleseddwa abayizi mu misono egy’enjawulo gye boolesezza era asabye Ssenkulu w’ettendekero lino nti bayambeko abaana okufuna akatale k’ebyo bye bakola era amukubirizza nga tebanalowooza ku kutwala misono gino mu bifo binene ebweru, bafune ekifo eky’enjawulo okuliraana ettendekero abayizi we basobola okwoleseza emisono n’obukugu bwabwe obuva mu bibasomesebwa.
Minisita Kiyimba era asabye abayizi obutanafuwa kulowooza nti bamanyi nnyo olwokuba bakuguse mu kwolesa emisono wabula basaanidde okwongera okunonyereza ku bintu bye bakuguseemu bongere obumanyirivu kibayambe okubafuula abantu ab’omuwendo mu ggwanga.
Owek. Kiyimba wano w’asinzidde n’asaba gavumenti edduukirire amatendekero g’ebyemikono n’ebyuma ebitambuza emisomo mu by’emisono awamu n’okukendeeza ku misolo egiteekebwa ku masomero gano okwanguya n’okusikiriza abayizi abalala okubyettanira.
Ssenkulu w’ettendekero lino Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu agamba nti emyaka 26 ettendekero gye limaze nga liwereza eggwanga, terikomye ku byanjigiriza byokka wabula lifulumizza abayizi bangi mu by’emikono ebibayambyeko okwetonderawo emirimu nga bafulumye, era naye asabye gavumenti okusoosowaza ebintu nga bino ebiggya abantu mu bwavu nga ate birabwako. Balikuddembe asabye abayizi okufaayo ennyo okukuuma empisa nga bakola emirimu gino kubanga tewali muntu asobola kukozesa muntu wa mpisa mbi.

Akulira essomo ly’ebisiige n’ebiyiiye ku ttendekero lino Muky. Zawedde Monica agamba nti okutuuka ku kino kibadde kya bugumikiriza okuva eri abayizi okusobola okuwa abagenyi baabwe eky’okulabirako eky’omuwendo kubanga mu bbyo mulimu eby’okuyiga, eby’enfuna, okuwunda, okutonattona, n’okwolesa ebitone era asabye abayizi okutwala kino nga ekisobola okubawa ssente mu maaso.
Omukolo guno gwetabiddwako Omubaka wa Pulezidenti ow’e Kalungu Mw. Self Katabaazi nga ate yali muyizi mu ttendekero lino, abakulembeze ku ttendekero lino, abazadde n’abayizi bangi nnyo.