Buganda Ku Ntikko, buli alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe – Minisita Kawuki

Agafa e Mengo Jan 31, 2025
Share This

Bya Shafik Miiro

Bulange -Mmengo

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki akubirizza abaweereza abenjawulo buli omu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe Buganda esobole okudda ku ntikko.

Obubaka buno abuwadde asisinkanye Abalezi b’Amasaza mu Lusirika lwabwe olugguddewo omwaka oluyindidde mu Bulange e Mengo ku Lwokutaano.

Owek. Kawuki ategeezezza nti Buganda okubeera mu kifo kyayo, buli muntu ateekwa okutuukiriza olutabaalo, kyokka nga waliwo n’okuwuliziganya ku mitendera gy’obukulembeze egy’enjawulo n’okutuuka mu abantu, olwo olujegere lunywere n’emirimu gya Kabaka gitambule bulungi.

Minisita Kawuki agamba nti emirimu okuggusibwa obulungi, enkolagana wakati w’abakulembeze okuviira ddala ku byalo, emiruka, eggombolola, Amasaza n’okutuuka ku Gavumenti ya Nnyinimu ate nga n’ebitongole nkulu era birina kutambulira wamu.

Abalezi abasabye okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obulungi nga bakulembeza obuvumu, obwesimbu, obumalirivu okuggusa entabaalo zonna, era abajjukiza okutuusanga amawulire agafa Embuga ku bantu ba Kabaka yonna gye bali, okugaba emisomo, okumanyisa enteekateeka z’Obwakabaka zonna okulaba nga zijjumbirwa awatali muntu yenna kulekebwa mabega nga Kabaka bw’alambika bulijjo.

Owek. Kawuki, yeebazizza abalezi bano omulimu gwe bakoze mu mwaka oguwedde naddala okuteekateeka Abaami abaggya abaatuuzibwa, era abakubirizza obutaddiriza wabula bongere okukola obuweereza bwabwe obulungi. 

Mu mbeera y’emu abasabye n’obutalekerera emirimu gyabwe egy’obuntu, bagiwe obudde gikule era babeere eky’okulabirako eri abantu abalala.

Abalezi beeyamye  okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe era bannyikize enteekateeka z’ Obwakabaka okutuukira ddala ku muntu asembayo.

LANGUAGE