Obwakabaka butandise okugaba endokwa z’emiti mu butaka bw’Ebika

Amawulire May 25, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mu kaweefube w’okukuuma embuga z’Ebika, obwakabaka butandise enkola y’okugabira bajjajja Abataka endokwa z’emiti bazisimbe ku mbuga z’Ebika nga omu ku kaweefube w’okukuuma obutondebwensi n’ettaka ly’embuga z’Ebika.

Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, bw’abadde akwasa Omutaka Mawesano ow’Ekika kya Ngaali, ne Katikkiro wa Kisoro, Ashe Kitandwe endokwa zino ku Bulange, ategeezezza nti embuga z’Ebika, ebifo byetuziikamu abafu, byetaaga okuba mu kibira era abantu abo basanyuka nnyo nga bali mu bisiikirize era enkola y’abazzukulu okugenda ku butaka empewo za bajjajja zibafuuweko, empewo ezo ziva mu miti egyo era wegitali tewaba bulamu.

Oweek Mariam agamba nti ettaka ly’Ebika okulikuuma obutatwalibwa bannakigwanyizi kikulu nnyo okusimbako emiti okutangira abalabe ate n’abazzukulu bafune webawummulira ssaako n’okukuuma obutondebwensi.

Omutaka Mawesano Omukulu w’Ekika kya Ngaali, asabye buli mutaka omukulu w’Ekika ajjumbire enteekateeka eno obutaka bwonna busimbweko ekibira kya Kabaka tukuume obutondebwensi ate n’okukuuma obutaka obutabbibwa.

Ashe Kitandwe, Katikkiro w’Ekika ky’Engonge, agambye nti ekikolwa ky’okusimba emiti bagenda ku kibunyisa mu bazzukulu baabwe basimbe emiti bakuume ettaka lyabwe wamu n’obutondebwensi.

Teddy Nabakooza Ggaliwango, omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka, annyonnyodde nti enteekateeka eno etambulira wamu ne ssabbiiti y’obutondebwansi era nga 10 Ssebaaseka, bagenda kukola bulungibwansi ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba era basomese abantu engeri y’okukwatamu kasasiro basobole okumufunamu emiganyulo egy’enjawulo, olwo entikko y’emikolo ya kukwatibwa ku Mother Kevin college Mabira nga 12 Ssebaaseka.

LANGUAGE