Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Ettendekero ly’Obwakabaka li Buganda Royal Institute of Business and Technical Education lifunye olukiiko olufuzi olupya olukubye ebirayiro leero ku mukolo ogubadde ku ttendekero e Mmengo – Kakeeka.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ku lwa Katikkiro ali mu luwummula mu kiseera kino, y’akulembeddemu omukolo guno ogubaddeko okusiima olukiiko oluwummudde, okulayiza olukiiko olupya n’okutongoza enteekateeka nnamutayiika ey’ettendekero lino ya myaka 5 (2026/27 – 2030/31).
Owek. Kaawaase yebazizza olukiiko oluwummudde olwa byonna ebikoleddwa mu kiseera kye baweereza, abeebazizza olw’okuteeka mu nkola okwolesebwa kwa Kabaka okw’okutendeka omwana asobola okwetabdikirawo emirimu sso ssi aginonya. Agamba nti bano baggasse ettoffaali ddene ku kukula kw’ettendekero lino.
Prof. Kaawaase ayozaayozezza olukiiko olupya era n’ategeeza nti balulinamu essuubi ddene okugatta ku kukulaakulana kw’ettendekero lino naddala nga bakozesa obukugu bwe balina mu bintu eby’enjawulo biganyule ettendekero. Bano abasabye okussa ekitiibwa mu nsengeka y’obukulembeze bw’Obwakabaka, okussa ekitiibwa mu Ssaabasajja, okuwulirizanga Kabineeti ye ekulemberwa Katikkiro n’okussa ekitiibwa mu ssiga ly’Abataka.
Prof. Kaawaase bano era abalaalise, nti bajja kusanga ebibasoomoza kyokka balina okwewala ebyekwaso, bakolere wamu okusala amagezi agabavvuunusa ebizibu ettendekero litambule nga ludda mu maaso. Abakuutidde okubeera abeesigwa era abawulize kibayambe okwanguyirwa emirimu.
Prof. Kaawaase mu buufu bwe bumu asanyukidde enteekateeka nnamutayiika eyanjuddwa, ne yebaza olukiiko oluwummudde olw’okuleka nnamutayiika ono nga ategekeddwa bulungi ng’agamba balese ekkubo eddungi eri ababadidde mu bigere. Kyokka ono abasoomoozezza nti abantu bangi bakola enteekateeka naye ne bataziteeka mu nkola ekiviiraako nnyingi okulemererwa, abasabye okufuba okulaba nga nnamutayiika ono atambula bulungi, nga tebasigala mu woofiisi yokka wabula bakke wansi balondoole bulungi emirimu nga buli muntu atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko naye yebazizza olukiiko oluwummudde olw’ettoffaali lye batadde ku kukula kw’ettendekero lino naddala nga litambulizibwa mu kulungamizibwa kwa Minisitule ne Gavumenti eya wakati, ababeezizza n’okuyisa ettendekero lino mu kiseera ky’obulwadde bwa lumiimamawuggwa mw’agambye nti amatendekero mangi gaggalwa, kyokka BRIBTE yasigala eyimiridde. Ono asabye olukiiko oluggya okunyweza ebikoleddwa be badidde mu bigere n’okukozesa obuyiiya nabo okugatta ku ttendekero lino.
Ssentebe awumudde Dr. Saturninus Kasozi Mulindwa yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’obwesige bwe yabateekamu okuweereza emyaka egisobye mu 10, ne yeebaza okulungamizibwa kwe babadde bafuna okuva mu Kabineeti ekulemberwa Katikkiro. Ategeezeza nti bingi ebituukiddwako omuli okuzimba ebizimbe eby’omulembe, okugula bbaasi, okugula emmotoka ya Ssenkulu mu ngeri entongole, okulinnyisa ennyingiza y’ettendekero, abakozi okulabirirwa obulungi n’ebirala.
Dr. Mulindwa asabye ababadidde mu bigere okwongera okutwala mu maaso ettendekero okwongera okulwanirira ettaka eryabawambibwako bannakigwanyizi, wamu n’okufuba okulaba nga ennyingiza y’ettendekero eva mu nsonga ez’enjawulo okusukka ebisale by’abayizi byokka.
Ssentebe omuggya Eng. Julius Mulumba yeyanzizza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa era yeyamye ku lw’olukiiko lwonna nti baakutambuliza obuweereza bwabwe mu nteekateeka empya ey’Obwakabaka eya Situla Omutindo naddala ennyingo ekwata ku byenjigiriza kubanga ebakwatako butereevu. Asuubiza nti baakuweereza nga beyambisa obukugu bwabwe okulaba nga ettendekero lituukiriza ebigendererwa byalyo nga balondoola emirimu, okukuuma ebyobugagga by’ettendekero n’okugaziya ennyingiza y’ettendekero okusitula ekitiibwa ky’Obwakabaka.
Ye Ssenkulu w’ettendekero, Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu yebazizza olukiiko olufuzi oluwummudde olw’ekiseera kye baweereza mw’agambye nti mubaddemu ebibala bingi ddala, abeebazizza olw’okulungamyanga byonna ebikolebwa my ttendekero lino, wamu n’okumuteekamu obwesige okuweereza nga Ssenkulu w’ettendekero lino emyaka kati egigenda mu esatu.
Ono ayanirizza olukiiko olupya era ne yeyama ku lwa banne bwe batambuza emirimu ku ttendekero nti baakusigala nga bawulize eri okulungamizibwa kwonna okuva eri obukulembeze obuggya, ekifaananyi ky’ettendekero kyongere okusituka.
Omukolo guno gwetabiddwako abakiiise ku lukiiko oluwummudde abaweereddwa ebirabo ebibasiima, abakiise ku lukiiko olupya abakubye ebirayiro byabwe, n’abamu ku bakulembeze mu ttendekero lino ababaddewo okujjulira byonna ebigenze mu maaso.