Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okweteekerateekeranga obukadde bwabwe

Amawulire Sep 09, 2026
Share This

Bya Jjuuko Huzair Wasajja

Sseguku – Busiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze abantu bonna okwetegekera obukadde bwabwe nga bazaala abaana abanaabalabiriranga mukiseera nga emibiri gyabwe jiyebye naddala nga bakadiye baleme kufiira mu bulumi na kiwuubaalo.

Okwogera bino Oweek Mayiga asinzidde mu kukubagiza abenju y’omugenzi Namirembe Martha e Sseguku Nazziba mu Busiro eyafudde gyevuddeko oluvannyuma lw’okulwarira ebbanga.

Kamalabyonna asiimye omugenzi Namirembe olw’okuzaala abaana, okubalabirira, okubasomesa, ate n’okubakuliza mu ddiini n’ebavaamu nga bamugaso abagasiza eggwanga lyabwe mungeri ey’ekitiibwa.

Oweek Mayiga era asiimye abaana b’omugenzi olw’okulabirira n’okujjanjaba nnyabwe mubiseera ebiseembeyo mu bulamu nebabeera kumpi naye nebamubudaabuda nga tebekwasiza mirimu nabuvunanyizibwa bulala.

Ow’omumbuga era asasidde nnyo ba mulekwa ne family y’omugenzi yonna olw’okufirwa omuntu wabwe omukulu ennyo bwatyo kale nabasa okugumira ku birungi byalese kubanga alesse abasomeseza era nabasabira Katonda abagumye.

LANGUAGE