Abavubuka bebaziddwa olwokulwanirira obutonde bwensi
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Sserwanga Ssaalongo asisinkanye abavubuka okuva mu Wakiso Parish Youth Apostolate wansi wa Kampala Diocese nga bakulembeddwamu Chaplain w’abavubuka Rev. Fr. Francis Kasajja awamu ne Ssaabavubuka Wamala Charles.
Abavubuka bano baagala nnyo okulwanirira n’okukuuma obutondebwensi, batumbudde obumu mu mirimu n’obuweereza bw’ebakola era basaba okuzimba omukago n’Obwakabaka okukolera awamu emirimu n’okuzimba obukulembeze bw’abavubuka.
Oweek. Sserwanga yeebazizza nnyo enkolagana y’ekereziya n’Obwakabaka naddala okukunga abavubuka bulijjo nga bayitiddwa mu mirimu egy’enjawulo.
Minisita era yeebazizza omulimu gwe bakola naddala mu kulwanirira obutondebwensi n’okutandikawo polojekiti eziyingiza ensimbi eri abavubukaAbavubuka bawagidde emirimu gy’Embuga ne satifikeeti ya 200,000 okuyambako mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Obwakabaka busabye abazadde okujja ekyeejo mu nkuza y’abaana kiyambeko okutaasa ebiseera by’eggwanga eby’omumaasoOct 17, 2026
Bwosiimba omuti, obeera okuuma obutondeOct 17, 2026
Obwakabaka bubangudde abakulembeze b’enzikiriza yakilokole mu byobukulembeze n’embeera eza bulijjoOct 16, 2026



