Bya George William Mugwanya
Busimbi Ssingo
Eddwaliro li Muteesa II e Ssingo liwezeza omwaka mubuwereza Wakati mukujjukira Amakitira ga Ssabasajja ag’emyaka 32 omwaka oguwedde, ogumu ku mukolo ogwakulembeera ebijaguzo bino kwaali kugulawo ddwaliro lya Bwakabaka li Muteesa II e Busimbi mu Ssingo okusobola okutuusa obujjanjabi obwekikugu ku bantu ba Kabaka wamu ne bannaUganda okutwaliza awamu.

Webutuukidde leero nga eddwaliro lino liwezeza emwaka gumu mu buwereza era akabonero k’okujjaguza bano bakubye olusisira lw’ebyobulamu olusombodde abantu ebule n’ebweya okujjaguza nga bwe bajjanjabwa.
Minisita w’enkulaakulana y’abantu ne wofiisi ya Nnabagereka Oweek Nakate Choltilda Kikomeko yaguddewo olusisira luno era asinzidde wano nakubirizza abantu ba Kabaka mu Ssaza Ssingo okujjumbira amalwaliro okufuna obujjanjabi nga balwadde ate n’okugoberera obulungi obujjanjabi obubaweebwa abasawo.
Oweek Nakate asomoozezza abazadde okulabirira obulungi abaana baabwe abawala okusobola okulwanyisa ekizibu ky’amabujje okufuna embuto ate n’okukendeeza okusaasana kw’akawuka ka mukenenya mu bavubuka b’omulembe guno.

Omwami w’Essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu yebazizza Ssabasajja Kabaka olw’amalwaliro agatuusizza ku bantu obujjanjabi obw’omutindo, nakubiriza banna Ssingo okwettanira eddwaliro lye Busimbi.
Mukwenda yebazizza abasawo olw’omulimu ogukoleddwa mu bbanga ery’omwaka ogumu, naddala aba Mmengo Hospital abaddukanya eddwaliro lya Muteesa II Busimbi.Olusiisira luno luwagiddwa aba Rotary Club ya Ssingo n’abavujjirizi abalala.