Bya Pauline Nanyonjo
Mengo – Kyaddondo
Ssenkulu wa Centenary Bank omugya yeyamye okutambula ne Buganda
Ssenkulu wa Centenary Bank omugya Byekwaso Godfrey akiise embuga okwanjulwa ewa Katikkiro ne Buganda mukiseera nga yakayingira woofiisi okutandiika obuwereza bwe mu ggwaanga nga ono akulembeddwamu ssenkulu omuwumuze Omuk Fabian Kasi munsisinkano ebadde ku Bulange e Mmengo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno nalaga nti abantu abakwata ku Buganda obuterevu bebalimi, abasawo, abasubuzi, abasawo nabalala abayingiza ensimbi era Obwakabaka bulina eddimu okubakwasa baanka ebakolemu omulimu bezimbe okuyita mu nteekateeka za baanka eno kale kyebava basosowasa enkolagana ne Centenary Bank.
Oweek Mayiga anyonyodde nti abantu b’omulembe guno abakugu mu byebakola balina okutambuza emirimu mu mbeera eriwo nga batereka ensimbi zabwe mu biffo ebituufu nga baanka so si wansi wamitto n’ebiffo ebirala ebitali bya mutindo era basinga kubazigira Centenary Bank okubayamba okukyusa obulamu bwabwe badde ku ntikko bekulakulanye.

Kammalabyonna asabye ssenkulu omugya okwongera okugaziya n’okugejjesa omukago Centenary bank gwerina n’Obwakabaka kuba Buganda erina akatale akagazi akasinga n’okuvaamu ebyamaguzi ebiingi kale nga omukago bwebanagwongerako nabo bagya kwongera okufunamu.
Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Oweek Robert Waggwa Nsibirwa alaze nti bazze batambula bulungi ne Centenary Bank nga wadde nga obumulumulu obutono bubaawo tebusobola kubikka buwanguzi bunnene kale ssenkulu omugya amusabye okubugonjjola mungeri ya kusajja kikulu nga bwanasobola okutambuza emirimu mungeri eyekikugu.
Ssenkulu wa Centenary Bank omugya Byekwaso Godfrey yeyamye nti mukulu we Mw Kasi wakomye wagenda okutandikira mu mirimu gye mbuga era on yeyamye era nakakasa nti bakugenda maaso n’enkolagana ennungi eriwo obutaddiriza kintu kyonna mabega kale era asabye Kammalabyonna n’Obuganda okwongera okukolagana ne Centenary Bank.

Abadde ssenkulu wa Centenary Bank Omuk. Fabian Kasi alaze nti wadde obukulembeze bwa banka eno bukyuse okuva ku ye okudda ku mulala, enkolagana n’Obwakabaka siyakukyukamu nakatono wabula okugenda mu maaso.
Ensisinkano eno yetabiddwako minisita wa Kabinet Oweek Noah Kiyimba, bassenkulu b’ebitongole okuli Omukungu Roland Ssebufu n’omukungu Remie Kisakye nabawereza ba Centenary Bank abatali bamu.