Eggwanga Okusaanawo Tekisoboka, Katikkiro Agumizza Bannayuganda

Amawulire Jun 25, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Bukomansimbi – Buddu

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga agumizza Bannayuganda abaweddemu essuubi nti Eggwanga ligenda kusaanawo olw’ebikolwa by’abantu ensangi zino. Asinzidde Bukomansimbi mu kuziika Taata amuzaalira omukyala we Margaret Mayiga

“Abazadde bangi tebakyafaayo ku zadde lyabwe, abavubuka bangi tebaluŋŋamiziddwa, abakuze n’abakadde emirundi mingi baweebuka, abantu bwe balaba ebintu ng’ebyo nga baggwamu essuubi nti eggwanga lisaanaawo olw’ebikolwa by’abantu” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti ebisoomooza mu Nsi mwebiri kyokka abantu tebasaanye kuggwamu ssuubi naddala ku lw’ensonga nti ebisoomooza bimanyiddwa bulungi na bwekityo bisobola okunogera eddagala, bano abajjukiza olugero lw’Abaganda olugamba nti ‘Ekijja omanyi, kinyaga butono’

Mayiga agamba nti ekimu ku biviriddeko abantu okweyisa mu mbeera ezitali nnungi, be bazadde okusuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe olwo abaana ne bakula awatali kugunjulwa bulungi. Kyokka era ne mu mbeera eno asabye abantu ba Buganda obutaggwamu ssuubi wabula buli omu naddala abazadde bafunvubire okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe era bazaale nga beeteeseteese bulungi.

“Temuzaalira Nsi kubanga temuli bumyu, anti akamyu ko lwekazaala ate lwe kawaka olwo obwana ne bubonaabona, enjogera egamba nti buli mwana ajja n’omukisa gwe ereme kubayigula ttama, ffe abantu buli mwana gw’ozaala olina okulabirira” Mayiga.

Katikkiro asabye abo abaagala okuzaala basooke kumalirira nti bajja kusobola okulabirira abaana mu mpisa ez’obuntubulamu olwo bakule nga balimu Ensa, eggwanga lifune abatuuze abangunbufu liwone okufaafaagana.

Katikkiro wano atenderezza Taata amuzaalira Omukyala, omugenzi kati Eldard Walakira olw’okugunjula obulungi abaana ne babeeramu empeke ey’obugunjufu era ne bagasa Ensi mu mirimu, mu bufumbo n’ebintu ebirala eby’enjawulo.

LANGUAGE