Ekibiina Ki Buganda Disability Council Kinoonya Obuwumbi Butaano Okuyamba Abaliko Obulemu

Amawulire Oct 12, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wasajja 

Kitebi  Lubaga – Kyaddondo 

Abantu abaliko obulemu badduse emisiinde mubuna byalo egy’omulundi ogw’okubiri nga ekigendererwa kyakunoonya ensimbi obuwumbi butaano okuzimba ekifo ekyokukakkalabizaamu emirimo gy’abwe. Enteekateeka eno ebadde ku ssomero lya Kitebi Primary erisangibwa mu Lubaga.

Kaminsona wa palamenti era omubaka omukyala owe Napak Nakut Faith Loru yabadde omuddusi omukulu. 

Mu bubaka obumutikkiddwa sipiika wa palamenti Jacob Oboth Oboth,  agamba nti Gavumenti etadde ensonga y’okulabirira abantu abalina obulemu ku mwanjo kubanga ne Ssemateeka wa Uganda owa 1995 akawayiro 21 kagaana okusosola abantu olw’obulemu ate nga  n’akawayiro 32 kawa abantu abalina obulemu enkizo ez’enjawulo ezibayamba okwenyigira mu nkulaakulana y’eggwanga wamu n’okuweebwa eddembe ly’abwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga nga ono akiikiriddwa omumyuka w’omuwandiisi w’enkalakkalirira mu Bwakabaka bwa Buganda  Omukungu Peter Zaake Ssenyumba Ssebayiga, asunyikidde nnyo enteekateeka. 

Katikkiro era ategeezezza nti abantu abaliko obulemu bwebafuna webasobola okukolera emirimu gyabwe kibayambako obutataaganyizibwa mirimo gyabwe, Kamalabyonna asanyukidde omulamwa gw’okudduka era nakubiriza abantu bajjumbire enteekateeka eno.

Owek. Dr Vincent Ssenabulya akiikirira abantu abaliko obulemu mu lukiiko lwa Buganda yebazizza nnyo gavumenti eyawakati wamu n’Obwakabaka bwa Buganda olw’okuvaayo nebawagira enteekateeka eno. 

Ono anokoddeyo ku bibasomooza, omuli ebbula ly’ebikozesebwa, mu bulamu bwabwe okugeza nga obugaali obubayambako okutambula era nasaba bekikwatako okukola ku nsonga nga zino nabo basobole okweyagalira mu ggwanga lyabwe.

Omulamwa kwe baddukidde emisinde ku mulundi guno gugamba nti (One Run, One Centre, All Abilities). 

Omukolo gw’etabiddwako Joseph Kabuye Kyofatogabye Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala n’ebitundu ebyetoolodde nga akiikiridde omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Jesca Alupo, bannamikago abeenjawulo nabaantu abalala banji.

LANGUAGE