Ekisaawe ky’e Buddu kigenda kutandika okuzimbibwa: Katikkiro aliko by’awabudde

Amawulire Jul 24, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Masaka – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti abantu ababa baliko bye bakoledde eggwanga basaana okusiimibwa mu ngeri ennungi, kuba baba baliko ettoffaali lye batadde ku ggwanga.

Bino abyogeredde ku mbuga y’Essaza Buddu bw’abadde atema evvuunike ly’Okuzimba ekisaawe ‘Kabaka Daudi Chwa II EACOP Stadium’, nga guno gumu ku mikolo gy’ebikujjuko byokujjukira Amatikkira ga Beene okw’omulundi ogwa 33 era atenderezza Ssekabaka Daudi Chwa II olw’okwoolesebwa okwamuwaliriza n’okuwaayo ettaka okutudde ekitebe kya FUFA e Mmengo.

“Kabaka Daudi Chwa ye Pulezidenti wa FUFA eyasooka mu Uganda mu 1924 nga ye yawayo n’ettaka okuli ekitebe kya FUFA e Mmengo naye mu woofiisi zaabwe, temuli yadde kifaananyi kye. Tusaanidde okumujjukira naddala kati nga muzzukulu we Kabaka Mutebi II aweza emyaka 33 ku Nnamulondo,” Kamalabyonna Mayiga.

Katikkiro Mayiga asabye kkampuni eyaweebwa omukisa okutambuza amafuta eya East African Crude Oil Pipeline (EACOP) obutakomya kisaawe kino mu kkubo kizimbibwe kiggwe. Wano w’asabidde ne kkampuni ya Ocean Tech General Holdings Limited eyaweereddwa obuvunanyizibwa okuzimba ekisaawe kino n’okukifukirira ekolagane butereevu ne kkampuni ya yinsuwa ey’Obwakabaka Weerinde Insurance Brokerage Services Limited, bawe abaweereza mu kkampuni yabwe yinsuwa y’obulamu.

Owoomumbuga agamba nti ekimu ku bikonzibya eby’emizannyo mu Uganda bbula lya bisaawe n’olwekyo bannayuganda batandise okuloza ku kweyagalira mu mafuta agazuliibwa mu ggwanga.

Minisita w’Abavubuka eby’Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Serwanga Ssaalongo agamba nti okuzimbibwa kw’ekisaawe kino kabonero akassa mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja ekyokutumbula ebitone mu bavubuka naddala nga Obwakabaka bulina enteekateeka nga omupiira gw’amasaza, emipiira gy’ebika n’emirala.

Omwami wa Kabaka ow’essaza Buddu, Pookino Jude Muleke yeyanzizza Beene olw’obuwagizi obw’enjawulo eri bannabuddu omubadde n’okuwaayo ettaka okugenda okuzimbibwa ekisaawe kino. Ssenkulu wa East African Crude Oil Pipeline mu Uganda John Bosco Habomugisha asabye abantu ba Buganda ne Uganda yonna obutakoowa kwaniriza ntekateeka y’okutambuza amafuta kuba etambulirako ebirungi nkumu.

Omukungu mu kitongole ekivunaanyizinwa ku mafuta mu ggwanga ki Petroleum Authority of Uganda Ali Ssekatawa asabye enkolagana wakati w’Obwakabaka ereme kuggwaawo.

Ssenkulu wa kkampuni eyaweereddwa pulojekiti y’okuzimba ekisaawe kino Mw. Oscar Asiimwe yeyamye okukolagana obulungi n’abakulembeze mu ssaza Buddu okulaba nga obutondebwensi butaasibwa ate n’abavubuka nga bafuna emirimu mu nteekateeka eno.

Ekisaawe kino kigenda kutuuza abantu omutwaalo gumu, kyakubaako ekifo awaddukirwa, awawugirwa, ebisaawe by’omunda omukolerwa emizannyo emitonotono nga kati ekitundu ekisooka kyakuwemmenta obuwumbi bwa Uganda bubiri era kijja kuggwa mu mweezi ogw’okubiri omwaka gwa 2028.

LANGUAGE