Bya Miiro Shafik
Lubiri, Mmengo – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asiimye n’alabikako mu Nkuuka ya CBS ey’omwaka 2025. Omuteregga atambudde ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, n’Omulangira Richard Ssemakookiro.

Omutanda asiimye n’ayogerako eri Obuganda era asoose kwebaza Obuganda olw’essanyu lye bumulaze nga bumwaniriza mu Lubiri e Mmengo. Oluvannyuma yebazizza bonna abawagira enkuuka era n’abakubiriza okwongera okugiwagira wamu n’enteekateeka endala zonna ezikulaakulanya abantu be.
“Mbalamusa mwenna, twebaza abo bonna abawagira enkuuka ya CBS, mwongere okuwagira enkuuka n’entegeka endala zonna ezikulaakulanya Obwakabaka, enteekateeka zino ke kamu ku bubonero obunyweza Omutima gwa Buganda ogutafa, twebaza abategesi, twebaza abamegganyi, tuyozaayoza Omuzira mu Bazira na bonna abeetabye mu kumeggana omwaka guno” Kabaka Mutebi II.
Maasomoogi akubirizza Obuganda okukuuma empisa ennono, n’olulimi Oluganda, by’agambye nti bizimba obumu n’obugunjufu.

“Omuzungu bwe yajja mu Buganda yatenderezza nnyo empisa n’Ennono zaffe awamu n’obukulembeze bw’Ebika era n’Olulimi, ebyo byonna biraga obugunjufu, bino nno tulina okwongera okubikuuma n’okubisomesa abaana kubanga bye bizimba obumu n’obugunjufu” Maasomoogi Mutebi II.
Beene obubaka bwe abukomekkerezza nga akubirizza abantu ba Buganda okwongera okusigala obumu, okubeera abavumu n’obutaggwamu ssuubi okusobola okuyita mu biseera eby’akazigizigi.
“Tuddamu okubakubiriza okusigala nga muli bavumu mu buli mbeera yonna, n’okujjukira nti okwegatta bwe buwanguzi bwaffe, temuggwamu ssuubi kazigizigi gwe tulimu kaakati ajja kukyuka singa ffenna tusigala ku mulamwa, Mwebale nnyo mwebalire ddala” Kabaka Mutebi II.
Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe asoose kukulisa Beene wamu n’abantu b’akuuma mu Lubiri ne mu Nsi yonna era n’asaba Omutonzi ayongere Omuteregga obulamu obulungi. Wano Katikkiro aloopedde Kabaka nti abantu ba Buganda bawulize nnyo eri obubaka bw’Embuga.
“Ssaabasajja Obuganda buno bw’olaba buwulize gyoli era mu 2025 bakiraze nga baanukula obubaka bw’obaweereza, era abavubuka bano bonna abali wano tewali n’omu akkiriza kukwatibwa mukenenya kuba wakibagaana, era bangi abali wano n’emmwanyi bazirimye kubanga bamanyi nti emmwanyi Terimba” Katikkiro Mayiga.

Mu mwaka 2026, Katikkiro akubirizza Obuganda okusigala mu buufu bwa Nnyinimu nga buli muntu alondoola obubaka bwonna obuva Embuga era aliko by’asuubizza.
“Tugenda kutalaaga Obuganda omwaka ogujja (2026) mu kaweefube w’okusitula omutindo mu byonna abantu bye bakola, abalima, abasuubula, a asitudde embeera z’amaka, abafuddeyo ku byobulamu, nga tulungamya abavubuka nga tulaba n’embeera abantu mwe bali” Owek. Mayiga.
Enkuuka ya 2025 eyakazibwako erya ‘Enkuuka Bwaguuga’ ebaddemu empaka ez’akamalirizo ez’Entanda ya Buganda era ewanguddwa Basajjamivule Yowana, yeddira nkima, ava mu ssaza Kyaddondo Kabaka gw’akwasizza ekyapa ky’ettaka nga Omuzira mu Bazira 2025. Ate ye Busuulwa Joseph eyawangula entanda Diaspora naye akwasiddwa ebirabo by’obuwanguzi

Abayimbi ab’enjawulo babaddewo mu bungi okusanyusa abantu ba Kabaka abeetabye mu Nkuuka 2025 nga mu beetabyemu mulimu; Abalangira n’Abambejja, Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, Abataka Abakulu b’Obusolya, Bannabyabufuzi, Bannaddiini, n’abantu ba Kabaka okuva mu Buganda n’ebweru waayo.
