Ganda Boys Beetondedde Obwakabaka

Amawulire Aug 13, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Abayimbi Dennis Mugagga ne Daniel Ssewagudde abamanyiddwa ennyo nga ba Ganda Boys bakiise Embuga mu Bulange e Mengo ne beetondera Buganda okuyita mu Katikkiro Charles Peter Mayiga

Katikkiro Mayiga yebazizza Mugagga ne Ssewagudde okwenyumiriza mu Bwakabaka okuva lwe beeyubula okuva ku ‘The Twins’ ne beetuuma erinnya ‘Ganda Boys’ ate ne batandika okusaasanya ennono ne bateefananyiriza abo abakopperera bannabitone abalala bye bazze bakola.

Owek. Mayiga bano abajjukiza nti wadde nga batunda oluyimba lwa Buganda mu nsi z’ewala balina okuwuliriza okuluŋŋamizibwa okuva Embuga kubanga nannyini luyimba olwo ye Ssaabasajja Kabaka.

Kamalabyonna asiimye enkola ye mirimu gya bano ky’agambye nti egyirayo ddala ekitiibwa kya Buganda okuviira ddala ku nyambala gye bambala ebivuga bye bakozesa mu kutumbula Ekitiibwa kya Buganda wadde nga bagaseemu ebivuga ebizungu ekitali kibi.

Katikkiro Mayiga akkiriza okwetonda kwa ba Ganda Boys ng’annyonnyola nti omwana yenna bwe yetonda kiraga obugonvu, era kiba kisaanidde asonyiyibwe. Ategeezezza nti Obuganda bwetefuteefu okubawagira okwongera okutumbula oluyimba naddala okusigala nga luyimbibwa mu butuufu bwalwo.

“Mukoze bulungi ne mukomawo era okwetonda kwammwe kukkirizidwa, kale ebisaanye okukolebwa okulaba nga oluyimba luno luyitimusibwa tujja bikola naye nga tuwuliziganya bulungi’ Katikkiro Mayiga.

Mugagga Denis mu kwogera kwe yetonze kw’ebyo ebyayogerwa era agamba nti bazze baluŋŋamizibwa abantu bangi okuva Embuga okusobola okutereera okukola Ekitiibwa kya Buganda.Muggaga alaze nti omulimu gw’okuyimba ekitiibwa kya Buganda baali basinga kwagala kwagazisa baana bato luyimba lwa ggwanga lyabwe wadde nga balina enkoge entonotono naye agamba tebajja kuva ku mulamwa.

Olukiiko luno lwetabiddwamu Minisita Noah Kiyimba, Minisita Israel Kazibwe Kitooke wamu n’omulangira Nicolas Basamulekkere Mwanga Omuyima wa ba Ganda Boys

LANGUAGE