Jiweze emyaka 12 nga Kyabazinga alamula obusoga

Amawulire Sep 19, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wassajja

Mayuge-Busoga

Jiweze emyaka 12 bukya Kyabazinga wa Busoga Isebantu Wilberforce Gabula Nadiope IV atuuzibwa mu bufuzi okulamula abantu be eranga nga mu bbanga lino emirimu mingi gyakoze okusobola okyusa embeera za bantu naddala okufuna ejjamba lye bateeka mu nsawo zabwe.

Emikolo gy’okujjaguza emyaka 12 egya matikkira giyindidde mu kisaawe e Mayuge mu Busoga mu kitiibwa wansi w’omulamwa ‘Okweyambisa Obuwangwa Okuleeta Enkulakulana’ nga gino gisombodde ebikonge ebyenjawulo okuli ebya gavumenti, eby’obuwangwa wamu n’Abasoga bonna.

Kyabazinga Wilberforce Gabula Nadiope IV obubaka bwe abutambuliza ku baana mwalagidde nti lye ssuubi lya Busoga ery’omumaaso era alagidde abazadde obutabakotogera nga babalemesa eby’enjigiriza eby’omuzinzi kale ono abakubiriza okufaayo okuwanirira abaana basigale mu ssomero nga bagyawo emisitale egiyinza okubalemesa okutukiriza ebirooto byabwe nga egyo egyamaka. Ono wano weyebaliza Obusoga n’ekitongole ki UNICEF ekikwatagana n’abazadde okulabirira abaana mu Busoga.

Kyabazinga Gabula IV akunze abavubuka okwenyigira mu nsonga z’obyebulimi n’obulunzi kyanyonyodde nti kisoboka ku Busoga erina ettaka eddungi nga singa baba balimiddeko ebibala,emmwanyi oba kkooko n’ebirala bisobola okuvaamu ensimbi eziyimirizaawo amaka gabwe wamu n’okutondawo emirimu egiwebwa bannabwe abalala.Kunsonga y’obutonde bwensi obunaabuse ensangi zino Isebantu akubiriza abantu okukuuma obutonde bw’ensi nga basimba emiti kyalaze nti singa bakikola bakutegekera abaana babwe n’abazukulu omulembe omulungi gwebalyenyumirizaamu.

Kyabazinga era yebazizza nnyo bannamikago abakwatizaako Obwakyabazinga mu kutegeka okujjukira amatikkira gano.

Katikkiro wa Busoga Dr.Joseph Muvvawala yebaziza Kyabazinga olw’okukulembera Busoga mu geri ey’etiibwa kati emyaka 12 nalaga nti obukulembeze bwe bulimu enkyuka kyuka ey’omugundu. Kyokka ono asabye pulezidenti Museveni okujjukira Busoga eddizibwe ebintu byaayo byebanja gavumenti.

Katikkiro Charles Peter Mayiga kulw’Obwakabaka alaze nti Buganda ne Busoga balina ebyafaayo bingi ebibagata nga n’omulamwa gw’okujjukira amatikkira ga Kyabazinga ‘Okweyambisa Obuwangwa Okuleeta Enkulakulana’ nga alaze nti n’emu Buganda obuwangwa gwe musingi ogukozesebwa mubuli nsonga kale nga ono yeyamye nti bakusigala nga batambulira wamu webatyo.

Mububaka bwa Pulezidenti w’eggwanga obutusidwa Ssabaminisita wa Uganda Rt Hon Robina Nabanja, bwesigamye ku nsonga za kukola nga ono akubiriza Abasoga okwenyigira mu bulimi obuvamu ensimbi era balime ebirime ebirina akatale nga emmwanyi basobole okwejja mu bwavu.

Abantu bebusoga basabiddwa okwagala ebyobuwanga byaabwe wamu nokukola ebyennono bya busoga omuli enyambala nebilala binjiOkusaba kuno kukoleddwa kamuli mary kuteesa minister webyobuwangwa nennono wabadde kumukolo gwa kyabazinga owokuna oguyindidde e Mayuge.

Omukolo guno gwetabiddwako abantu banji nga era obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Katikkiro wa Buganda wamu ne Minisita w’olukiiko, Kabinenti n’ensonga ezenkizo mu woofiisi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba, abakungu okuva mu Gavumenti eyawakati abalangira n’abambejja n’abalala.

LANGUAGE