
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwanjudde enteekateeka z’okujaguza Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 70. Nga waliwo ebigenda okukolebwa eby’enjawulo okunnyikiza obukulu bw’ekkula lino ery’emyaka 70 egya Nnyinimu
Enteekateeka zino zanjuddwa Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’amazaalibwa gano.
Ssaabasajja Kabaka yasiimye amazaalibwa ge ag’emyaka 70, gajagulizibwe ku mulamwa: “Tubeere balamu nga tujjumbira okwegemesa n’okwejjanjabisa endwadde zonna”
Owek. Nsibirwa akubirizza abantu ba Beene okwenyigira mu nteekateeka zino naddala ezo eziri mu bitundu byabwe nga ebyoto, okuggulawo eddwaaliro, ekizimbe ku St. Peter’s Bombo Kalule, okusaba mu masinzizo, emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka n’emirala.
Ye Minisita Robert Serwanga ku lw’olukiiko alutegeka emisinde era nga ye Omumyuka wa Ssentebe, akowoodde Obuganda okujjumbira okugula emijoozi n’okwetaba mu misinde, era wano ategeezeza nti essaawa yonna emijoozi gigenda kutuuka mu bifo eby’enjawulo gye ginaatundirwa.
Olukiiko omwanjuliddwa enteekateeka zino lutudde mu Bulange e Mengo era kwetabiddwamu abakiise ku bukiiko obw’enjawulo abakola olukiiko olw’awamu olutegeka ebijaguzo bino.
