Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire, okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke yetabye ku mukolo gw’okwanjulwa kwa Godfrey mu bakadde ba Florence Nabunjo e Kyaddondo.
Oweek Kazibwe asinzidde ku mukolo guno n’asaba abaakayingira obufumbo okukwasiza awamu emirimo gy’omumaka awatali kulekera mulala kwetikka kazito yekka.
“Obufumbo tebuba bwangu naye buli wemutegeeragana muyita mu bingi nnyo era temwetaagamu bya mukono gaamu, nga abakyala abasinga mwayiga ssente z’akamesza oba akasente k’ekikyala nga buli kimu otunuulidde mwami nga ate oluusi naye alemererwa, kale bwe mutambulira awamu obufumbo nabo kutambula bulungi” Oweek Kazibwe bw’alambise”.

Minisita Kazibwe mu ngeri y’emu akunze abavubuka okwewala okulwawo okuwasa n’obutagendera ku bigambo nti obufumbo ssi bwangu, abo babajja ku mulamwa.