Bya Hashim Ssembuusi
Muyenga – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka abawangaalira mu Buwalabu okutambulira mu buufu n’okulungamizibwa kw’omubaka, Ssaabasajja kabaka gwe yabakwasa okubakulembera Hajji Abbas Harunah Nsubuga kibayambeko okukuuma obumu n’okumanya ebifa ku Butaka.

Bino abyogeredde Muyenga mu ggombolola Mutuba III Makindye bw’abadde yetabye mu dduwa ya Hajjat Zarinah Nsubuga eyali mukyala w’Omubaka wa Kabaka ono owa Buwalabu Owek. Abbas Harunah Nsubuga.
Mukuumaddamula ategezeeza nti abantu ababeera mu mawanga ga Buwalabu basaanye okwewala okwerumaaluma, n’okwogera ebintu bye batalinako bukakafu kibasobozese okutambuza obulungi emirimo gyabwe ate n’okufaayo okugoberera emirimu egikolebwa Obwakabaka.
Owek. Mayiga atenderezza obukakkamu bwa Sheikh Abbas Nsubuga era amwogeddeko ng’omuntu ayagala nnyo Obwakabaka, abuweereza n’omutima gwe gwonna. Wano era asiimye omugenzi Zarinah olw’okuwagira bba ekiseera ky’abadde naye n’amusobozesa n’okutuukiriza obuvunanyizibwa Kabaka bwe yamwesigisa. Asabye Katonda omugenzi amulamuze kisa.

Katikkiro Mayiga asinzidde n’akubirizza abaana okukuuma obumu ne mu kiseera kino nga baviiriddwako nnyabwe bongere okunywera. Ategeezezza nti obumu butandikira mu nju ne bulyoka busaasanira eggwanga kale nga ne wakati mu kusoomoozebwa ng’okuviibwako empagi ya Maama, tebasanye kuterebuka wabula okubeera awamu.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’ebitindu mu Bwakabaka Oweek Joseph Kawuki yebaziza nnyo Hajji Abbas Nsubuga olw’okusosowazanga ensonga z’Obwakabaka, ono ategeezezza nti mu kiseera mukyala we yafiira yali mu nteekateeka za kutegeka ttabamiruka wa Buganda mu Buwalabu, kyokka era teyaterebuka yanywera enteekateeka n’aziggusa bulungi. Ono asabye abantu ba Kabaka bulijjo okusoosowazanga ensonga za Buganda nga besigama ku mawulire amatuufu awatali kumala gatwala buli kye bawulira.
Omumyuka wa Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Ibrahima Ntanda tayawukanye na boogezi balala bonna atenderezza embeera za Sheikh Abbas n’amusaasira okufiirwa mukyala we ate mukwano gwe kyokka amusabye obutaggwamu ssuubi afuneyo omuntu omulala asobole okumugumya mu kiseera kino eky’okusoomozebwa, ate n’okukumaakuma abaana.
Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda naye eyetabye mu dduwa eno, mu kwogera kwe atenderezza nnyo Hajji Abbas Nsubuga olw’omukwano n’okufaayo gw’alaze eri mukyala we ebbanga lyonna, amwebazizza okubeera omuzzanganda era omusajja asembeza abantu bonna awatali kusosola.
Sheikh Abbas Nsubuga yebazizza nnyo Katikkiro n’abantu bonna abamubeereddewo mu kiseera kino eky’okusoomoozebwa kyokka n’asuubiza okwongera okuguma okutambuza obulamu. Ono yeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’obuvunanyizibwa bwe yamuwa era asabye abasiiraamu okukomya okwewala Mmengo n’okukomya okuvumirira ebikolebwa Obwakabaka wabula basembere eri Obwakabaka era benyigire mu buweereza bw’Obwakabaka, abasabye okwewala okwogera ebintu bye batalinaako bukakafu ku Bwakabaka.
Ono asabye n’abavubuka okukomya omuze gw’okuvuma abantu nga bayitira ku mutimbagano n’abalabula nti ky’okola mu kati naye kisobola okukolebwako mu luvannyuma.
Wabaddewo aboogezi n’emisomo egyenjawulo; Dr Abdul Haphizu Muusa Walusimbi okuva ku Islamic University ettabi ly’e Mbale nga y’omu kubakulembeddemu okubuulira mu dduwa eno, awakanyinza ebigambibwa nti eddiini y’obusiraamu yasibira abakyala emabega era ono asabye Abaami okuteekateeka obulungi bakyala baabwe basobole okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe mu buli kimu naddala mu nsonga y’okukuza abaana.
Ye Shiek Yusuf Mutimba asabye abaana okuyitiriza ennyo okusabira bakadde baabwe naddala abo ababava ku maaso, Allah ayongere okubasaasira.Hajji Muhammad Mubiru nga ono ye mukulu wa Hajji Abaasi Nsubuga nga yayogedde ku lw’abenju ategeezeza nti bajjajjaabwe baali mpagi luwaga nnyo mu kugatta eddiini y’obusiraamu n’Obwakabaka. Ono agamba nti baasanyuka nnyo Maasomoogi bwe yasiima n’awa muto waabwe obuvunanyizibwa okumulamulirako abantu be e Buwalabu.
Edduwa eno yetabiddwako; Minisita w’Obulimi n’obulunzi Oweek. Hajji Amiisi Kakomo, Omwami wa Kabaka amukulembererako e kitundu kya Ankole Hajji Mutaasa Kafeero, Owek. Ivan Mukasa, Owek. Dr. Radhid Lukwago n’abalala bangi ddala